Amawulire

Kkooti eyimirizza okugobwa kwa kkansala wa NUP  mu lukiiko lwa KCCA

Wiiki ewedde kkooti yasazaamu okulondebwa kwa Godfrey Luyombya ku bwakkansala kubanga yasunsulwa mu bukyamu.

Kkooti eyimirizza okugobwa kwa kkansala wa NUP  mu lukiiko lwa KCCA
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

Wiiki ewedde kkooti yasazaamu okulondebwa kwa Godfrey Luyombya ku bwakkansala kubanga yasunsulwa mu bukyamu.

 

 Luyombya akiikirira ggombolola y’e Nakawa ku lukiiko lwa KCCA ku City Hall .

Ekiwandiiko kya kkooti ekyafulumiziddwa.

Ekiwandiiko kya kkooti ekyafulumiziddwa.

Ekiwandiiko kya kkooti ekitereddwako omukono gw’omulamuzi Joe Fay Adoko ayimirizza okuteekesa mu nkola okugoba Luyombya (NUP) okutuusa ng’okujulira kwe yataddemu kumaze okuwulirwa.

 

Luyombya (NUP) y’avunaanyizibwa ku by’okuteekerateekera ekibuga ku kabineeti ya Loodi Mmeeya Ronald Balimwezo, yalangirirwa ku kya kkansala wa Nakawa II okukiika ku lwa KCCA olutuula ku City Hall naye gwe yavuganya naye Emmanuel Kitosi (NRM) yaddukira mu kkooti ng'awakanya obuwanguzi bwe.

Luyombya gwe baali baagoba.

Luyombya gwe baali baagoba.

Kitosi yagamba nti akakiiko k'eby’okulonda kaawandiisa Godfrey Muyombya mu kifo kya Godfrey Luyombya ng’ate n’abamu ku baamusemba bali mu kkomera mu kumusunsula.

 

Omulamuzi Joe Fay Adoko owa kkooti e Nakawa yakkiriziganyizza ne Kitosi nti okuwandiisa Luyombya tekwagoberera mateeka era teyaleeta bukakafu nti Doreen Kaija omu ku baamusemba teyali mu kkomera mu kiseera ky’okumuwandiisa n’agaana eky’akulira akakiiko k’ebyokulonda mu Kampala, Rashid Hasakya okugamba nti yali nsobi okulangirira nti yali asunsudde Muyombya Godfrey ate ng'ono yali teyeeyanjude gy’ali bwatyo n’agamba ensonga z’ebyokulonda zirina kukwatibwa n’obwegendereza.

 

Adoko bw’atyo yasazaamu Luyombya n’alangirira Emmanuel Kitosi ku bwakkansala wa Nakawa II n’alagira Luyombya okuva mu kifo ekyo amangu ddala.

Tags:
KCCA
Kkooti
Kuyimiriza
NUP
Lukiiko
Egobye
Kugoba