Amawulire

KCCA egenda kuwanika amataala mu kibuga okukendeeza obumenyi bw'amateeka

EKITONGOLE kya KCCA kyakwongera okuwanika amataala mu kibuga n'ekigendererwa eky'okulwanyisa obumenyi bwa mateeka naddala mu bitundu by'enzigotta

KCCA egenda kuwanika amataala mu kibuga okukendeeza obumenyi bw'amateeka
By: Racheal Nankya, Journalist @New Vision

EKITONGOLE kya KCCA kyakwongera okuwanika amataala mu kibuga n'ekigendererwa eky'okulwanyisa obumenyi bwa mateeka naddala mu bitundu by'enzigotta

 

Ebitaala bino byakuteekebwa mu bifo ebiwangaaliramu abantu abangi nga obutale obujjudde enzikiza abamenyi ba mateeka nga babadde bakozesa omukisa ogwo okubatuusaako obulabe.

LoodiMmeeya Wa Kampala Ronald Balimwezo ng'annyonnyola.

LoodiMmeeya Wa Kampala Ronald Balimwezo ng'annyonnyola.

Loodimmeeya wa Kampala Ronald Balimwezo Nsubuga yategeezezza nti ekitongole kya KCCA kifunye ebitaala 210 bye kigenda okuteeka mu bitundu by'enzigota mu ggombolola 5 ezikola Kampala okuli; akatale ka Katwe II e Makindye, e Mutungo mu Nakawa, Kazo Angola e Kawempe, e Rubaga mu zzooni ya Kabaawo ne Kamwokya

 

Balimwezo yategeezezza nti kkampuni ya "Phillips" ng’eyita mu kitongole kyayo ekya "Signify" mu kiseera kya Covid baabawa ebitaala 1100 agaatekebwa mu bifo omuwangalira ababundabunda, mu malwaliro 105 nayo ne bassaayo nga n'okutuusa kati gakyakola

 

Yinginiya wa KCCA alondoola amataala gano Abudallah Ssennyonjo yategeezezza nti mu kiseera kino baakuteekayo amataala 210 wabula nga obwetaavu bukyali bwa mataala 42,000

 

Balimwezo yalabudde bakontulakita ababawa ebitaala ne bitawangaala n'abalondoola emirimu gino okwesuulirayo ogwannagamba nti baakukangavvulwa.

 

Agamba nti baakutondawo obukiiko obunaalondoola buli ekikolebwa ku kkubo era abo ababba ebitaala n'ababikoona nga batamidde baakukwatibwa amateeka gabalamule

 

Paul Peters akola n'ekitongole kya signify yagumizza bannayuganda nti baakuweebwa amataala amatuufu agali ku mulembe era nga batendese abantu ku nkwata y'ebitaala bino okusigala nga birondoolebwa okubeera mu mbeera ennungi

 

Yue Cui ddayirekita w'ekitongole kya signify yategeezezza nti  baalaba obwetaavu bw'ebitaala mu Uganda era bannayuganda ne balaga okusiima nabo ekisigadde nga kibawa amaanyi okubissa mu bitundu ebiri mu katyabaga

Tags:
KCCA
Mataala
Kuwanika
Kibuga