Amawulire

Poliisi ekyatubidde n'omulambo gw'omuwala eyasalibwako omutwe e Masaka

Ettemu lino lyaliwo, omuwala ono eyategeerekeka nga Jackline Tumusiime bwe yasalibwako omutwe ne bagusuula e Butale -Buzinga mu kitundu ky'e Kako e Masaka ate ekitundu ky’omubiri ekirala nakyo ne kizuulibwa mu kitundu ekirala.

Poliisi ekyatubidde n'omulambo gw'omuwala eyasalibwako omutwe e Masaka
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Poliisi e Masaka, ekyatubidde n'ebitundu by'omulambo gw'omuwala eyasalibwako omutwe gye buvuddeko.

 

Ettemu lino lyaliwo, omuwala ono eyategeerekeka nga Jackline Tumusiime bwe yasalibwako omutwe ne bagusuula e Butale -Buzinga mu kitundu ky'e Kako e Masaka ate ekitundu ky’omubiri ekirala nakyo ne kizuulibwa mu kitundu ekirala.

 

Ettemu lino, kigambibwa lyakolebwa Quraish Kamugisha Mujulizi agambibwa okwewaako obujulizi nti yamuggyamu ebimu ku bitundu n'abirya.

 

Agamba nti omutwe gwali gumutumiddwa omusawo w'ekinnansi e Rakai nti kyokka bwe yagaana okumalayo ssente n'atagumuwa, n'abaako w'agusuula.

 

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti poliisi etaddewo ennamba eri abo abayinza okuba nga bamanyi omuwala ono abategeeze. Kuliko 0741445532, 0741445534 ne 0741445535

 

Tags:
Amawulire
Muwala
Masaka
Kutubira
Mulambo
Mutwe