Omwana ow'emyaka 10 agudde mu mwala amazzi ne gamutwala, bw'abadde azannya ne banne.
Bibadde Kabulengwa e Kyebando mu Wakiso, omwana omuwala abadde azannya ne banne, bw'agudde mu mwala mu nkuba ebadde etonnya n'afa.
Ate waliwo omwana ow'emyezi 10 eyabadde abbiddwa omukozi w'awaka e Konge Makindye, poliisi emuzudde.
Owoyesigyire agambye nti waliwo abantu babiri abaasoose okukwatibwa era ne babatuusa ku mukozi ono mu West Nile era omwana ne bamuzuula nga mulamu so ng'era naye bamukutte.