Amawulire

Omulambo gw'omwana eyagudde mu mwala e Kabulengwa gukyabuze!

Omwana ow'emyaka 10 agudde mu mwala amazzi ne gamutwala, bw'abadde azannya ne banne.

Omulambo gw'omwana eyagudde mu mwala e Kabulengwa gukyabuze!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omwana ow'emyaka 10 agudde mu mwala amazzi ne gamutwala, bw'abadde azannya ne banne.

Bibadde Kabulengwa e Kyebando mu Wakiso, omwana omuwala abadde azannya ne banne, bw'agudde mu mwala mu nkuba  ebadde etonnya n'afa.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti bakyayigga omulambo gw'omwana.

Ate waliwo omwana ow'emyezi 10 eyabadde abbiddwa omukozi w'awaka e Konge Makindye, poliisi emuzudde.

Owoyesigyire agambye nti waliwo abantu babiri abaasoose okukwatibwa era ne babatuusa ku mukozi ono mu West Nile era omwana ne bamuzuula nga mulamu so ng'era naye bamukutte.

Tags:
awulire
Kabulengwa
Mulambo
Kwanukula
Kugwa