Omuvuzi wa bodaboda e Kamuli bamusse pikipiki ye abazigu abatannamanyika ne bagenda nayo.
Ategeerekese nga Anthony Mugaya omutuuze w'e Kidogwa B mu ggombolola y'e Wankole e Kamuli era ng'abadde avugira ku siteegi y' e Luzinga.
Pikipiki ye nnamba UMA 889 DY , bagitutte era ng'omulambo guzuuliddwa mmita nga 10 okuva ku kkubo nga gubunye ebisago eby’amaanyi ku mutwe, ne ffeesi nga kisuubirwa nti baamukubye nnyondo.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samson Lubega, agambye nti banne baasembye okumulaba eggulo akawungeezi, leero, basanze mulambo.