Abavubuka 68 batendekeddwa ennunda y’ebyennyanja eyomulembe oluvannyuma ne baweebwa ebikozesebwa okutandikawo bizinensi.
Bino kuliko; ebyannyanja emitwalo 12, ebidiba, bbaketi, obutimba n’ebirala.
Abavubuka bano bawangaalira Masese mu disitulikiti y’e Jinja n’e Namwendwa e Kamuli era bamaze emyezi ena nga batendekebwa ku ffaamu okuli Kamos Agro Fish Farming Ltd n’endala.

Rosemary Namutebi okuva mu Cordaid Uganda
Era baatuula n’ebibuuzo by’ekitongole kya Uganda Vocational and Technical Assessment Board (UVTAB) ne baweebwa satifikeeti ezibasobozesa okufuna emirimu.
Pulojekiti eno eddukanyizibwa ekitongole kya Cordaid Uganda nga bayambibwako omukago gwa Bulaaya (European Union), embase ya Belguim n’ekitongole kya Enabel. Era bakolera wamu n’ebitongole okuli; WeWork Green and Decent Jobs for Youth project, Rikolto ne CAEVA.
Kaloli Dhizaala, ssentebe wa disitulikiti y’e Kamuli agamba nti ebyennyanja bisobolera ddala okuggya bannayuganda abawera mu bwavu kubanga birimu emirimu mingi okuva mu kubyaluza, okubirunda ppaka lwe bigenda ku katale.
Yasabye abavubuka abaasomeseddwa, okukozesa amagezi n’entandikwa gye baafunye okutandikawo bizinensi zibayambe okweggya mu bwavu, ne famire zaabwe.
Lincoln Opio, akulira pulogulaamu z’ebyemmere mu Cordaid Uganda agamba nti abavubuka baayize bingi okuli okusima n’okuteekateeka ebidiba, okwawula ebyennyanja ebirungi eby’okulunda, okulondoola omutindo gw’amazzi n’ogwebyennyanja nga biri mu kidiba. Era baabanguddwa mu nzirukanya ya bizinensi n’okuzikuza.

Abamu ku bavubuka nga bali mu kutendekebwa ku Kamos agro fish farm
Opio agamba nti pulojekiti eno egendereddwamu okukulaakulanya Busoga nga bayita mu kuyamba abavubuka okutandikawo emirimu n’okuyunga abalina obumanyirivu mu kulunda ebyennyanja ku ffaamu ezaagala abakozi.
“Era tukolagana ne gavumenti z’ebitundu, ebibiina by’obwegassi ne bizinensi okusobola okuyamba abavubuka okufuna akatale k’ebyennyanja,” bw’agamba.
Ye Eric Biguyi, akulira CAEVA agamba nti abavubuka bye bayigirizibwa byamugaso nnyo kubanga bikyusa obulamu bwabwe.
Yawadde ekyokulabirako kya Joel Wambi eyali omulimi kyokka nga tafunamu. Oluvannyuma yafuna omukisa ogutendekebwa mu kulunda ebyennyanja ku Kamos agro fish farm era teyadda mabega. “Aba Rikolto ne Cordaid nabo bansomesa engeri gyensobola okutandikawo bizinensi n’okugikuza,” bw’agamba.
Kamuyat Tugane ne Esther Nawandije nabo beenyumiriza mu kulunda ebyennyanja era bagamba bayize bingi okuli okulabirira ebidiba era bateekateeka kutandikawo bizinensi zaabwe.
Opio yeebazizza aba Masese cooperative society ne Kamos farm olw’okuwa abavubuka baabwe emirimu.
Agamba nti pulojeketi yaakuyamba abavubuka 500, abakazi n’abasajja naddala abali mu bwetaavu kyokka ebitundu 12% biweebwa abaliko obulemu.
Ye Rose Namutebi akwasaganya pulojekiti eno agamba nti; “Abalunzi tubayamba okutumbula ffaamu zaabwe n’okubayunga ku katale.”