Amawulire

Abantu basabiddwa okubeera n'enteekateeka ennungi nga tebannagenda mu kwewola

Abantu basabiddwa okwemanyiiza enkwata ya ssente ennungi nga tebanatandika kwewola, nti kubaga okwewola kuyinza okukusuula mu bwavu singa tobeera na nteekateeka nungamu.  

omutandisi wa Step Forward SACCO Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula ng'ayogera
By: Vivien Nakitende, Journalist @New Vision

Abantu basabiddwa okwemanyiiza enkwata ya ssente ennungi nga tebanatandika kwewola, nti kubaga okwewola kuyinza okukusuula mu bwavu singa tobeera na nteekateeka nungamu.
Byogeddwa Denis Odeba Javuru akulira ebya “Capacity building” mu kitongole kya Microfinance Support Center, bwabadde omugenzyi omukulu mu lusirika lw’abakulembeze b’ebibinja (Cluster leaders) ebya SACCO ya Step Forward eyatandikibwawo ssentebe wa NRM e Lubaga Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula, olubadde ku ssomero lya St Balikuddembe SS e Katale Sseguku

Denis Odeba Javuru owa Microfinance support center ng'asomesa aba Step Forward SACCO

Denis Odeba Javuru owa Microfinance support center ng'asomesa aba Step Forward SACCO

Ono agambye nti, ebibiina by’obwegassi bisobola okukulaanya omuntu nafuuka ow’amaanyi  singa abeera omwesimbu, nabasaba okwemanyiiza enkola y’okutereka nga tebanalowooza ku kwewola, kubanga bwoyiga empisa y’obuteresi n’obwegassi oganyulwa kinene.
Agambye nti, ebibiina by’obwegassi birungi singa omuntu abeera yeetegese, kubanga byo biwola ku ssente zammwe ba memba  zemuterekayo, nebibawolera  ku magoba amatono okusinga zi bbanka ate nga tebirina misingo (surities) gya maanyi, nawa eky’okulabirako ky’abantu abeewola mu bbanka, oli  nagenda okwewolayo  obukadde 10,  kyokka nasingayo omusingo ogubalirirwa mu bukadde nga 200 ate oluusi nebagutwala bwalemererwa okusasula amagoba nago agabeera amangi.

Jackline Ritah Namyalo

Jackline Ritah Namyalo


Naawa abantu amagezi naddala abatuuse mu myaka gy’okuwummula ku mirimu emisome gyebakolera, okwettanira ebibiina by’obwegassi bino nti kubanga ye ntegeka (retirement plan) ennungi enyo mu byenfuna.
Omutandisi w’ekibiina ky’obwegassi kino ekya Step Forward SACCO, Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula, agambye nti omulamwa omukulu ogwamutandisaawo ekibiina kino, kwekuyambako bannayuganda okwekulaakulanya n’okubawonya ba moneylender abamalawo  ebintu byabwe mu mankwetu nga bayita mu kubawola ssente.
Nabasaba okwettanira Step Forward SACCO bekulaakulanye, kubanga gavumenti etaddewo ssente okubayambako, ate nga kati ekibiina kino kikuze kyeyongera okutuuka mu buli kitundu mu ggwanga lyonna.
Ye Jacline Ritah Namyalo, akulira eby’okubangula (Head training) mu kitongole ekirabirira ebibiina by’obwegassi mu ggwanga ekya; Uganda saving society  and cooperative union, (USCU), ategeezezza aba SACCO ya Step Forward nti mu bwegassi basooka kutereka n’oluvannyuma nebeewola,  nti kale essira tebasaanye kulissa nyo ku bwewozi bwa ssente wabula lisooke libukale mu kutereka oluvannyuma beewole.

Robert Kato omuwandiisi wa Step Forward SACCO

Robert Kato omuwandiisi wa Step Forward SACCO


Alabudde ba memba nti, kikyamu omuntu okutandika bizinensi ne ssente ng’azewoze bwewozi, nti kizibu bizinensi ekika kino okukula, kubanga nyiniyo aba tanagitegeera bulungi, ga kikyamu ate okugitegeerera mu mabanja, sso singa atandika n’ekitono kyalina n’ategeeera bizinensi,  olwo nalyoka yeewola ng’agitegeeera bulungi. 
Nabawabula obutamala geewola ssente, beewole wokka awagwanidde kyetuyita “smart loan”. Looni ogyetegekere togwira ngwire kuba looni nzibu,  ejja n’amagoba agagenderako era ezo  ze kibooko z’obutatereka ezikukubwa, olwo n’osasula bali abaatereka ezaabwe nebakuwola.
Robert Kato, ssabawandiisi wa Step Forward SACCO agambye nti,  ekibiina kyabwe kyatandikibwawo omwaka guno nga gutandika okuyamba abantu okuva mu bwavu era kati kikuze okwetoloola disitulikiti 20 mu Uganda yonna, ba memba baweebwa ebintu omuli; bassale, enkoko, embuzi okwekulakuala, okubawola ssente okugatta ettoffaaali ku nkulaakulana y’eggwanga.

bammemba ba Step Forward SACCO mu musomo

bammemba ba Step Forward SACCO mu musomo


Nateeeza nti, leero babadde basisinkanye abakulembeze b’ebibinja (cluster leaders” n’abakwanaganya baabyo (coordinators)   abasoba mu 500, okwongera okubasomesa ku bwegassi n’okutereka, okutereka ng’olina ekiruubirirwa kyoyagala okutuukako SACCO ya Step Forward nekuyamba okukukituukiriza.
Tags: