OMUSAJJA atemyetemye muganzi we n’amutta mulambo n’agupakira mu nsawo n’asiba ebintu by’omu nnyumba byonna n’adduka.
Bino byabadde Masajja Kibira B mu munisipaali ya Makindye Ssaabagabo mu Wakiso, Eddy Muliika avuga boda bwe yatemyetemye Lillian Katusiime n’amutta omulambo
n’agupakira mu nsawo.
Omulambo gwa Katusiime gwazuuliddwa ku Lwokubiri ku ssaawa 5:00 ez’oku makya nga Muliika yabadde akomyewo muebyabadde bisigadde.
Katusiime abadde yaakava ku kyeyo e Saudi Arabia mu mwezi gwa August nga 16 n’apangisa ennyumba eno mw’abadde asula. Ku ssente ze yaggya ku kyeyo, yali akozeeko n’edduuka lya mobile money mu kitundu kino era kigambibwa nti baabadde
baakamala emyezi ebiri nga baagalana ne Muliika.
Ku Lwokubiri, landiroodi w’ennyumba Katusiime kw’abadde apangisa, Aida
Nakimuli yeekengedde, bwe yalabye Muliika ng’afulumya ebintu mu nnyumba ate nga Katusiime tamulabawo. Yamubuuzizza ekigenda mu maaso kwe kumwanukula nti
Katusiime ali mu ddwaaliro e Mulago naye nga by’annyonnyola ebitegeerekeka. Yalabye amulemeddeko kwe kudduka, olwo abaabaddewo ne bakuba enduulu n’okumutaayiza wabula n’ababulako.
Baggudde oluggi lw’omuzigo gwa Katusiime ne basanga ng’ennyumba nkalu, kwe kukebera mu kinaabiro ne basanga kisawo okukebera ng’omulambo gwa Katusiime nga mwe yagupakidde.
Baakubidde poliisi y’e Katwe eyazze ng’ekulembeddwa agiduumira Innocent Mubangizi
n’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango, Wyclif Mujjuzi.
Abatuuze baalaze poliisi Muliika w’abadde apangisa nga weesudde mmita nga 200 okuva Katusiime w’abadde asula. Poliisi yayazizza mu nnyumba ya Muliika n’esangamu essimu za Katusiime n’ebintu by’omu nnyumba bye yabadde abbye.
Kyategeerekese nti wadde Muliika abadde alina ennyumba gy’apangisa, ebiseera ebisingaabadde asula wa Katusiime. Muliika abadde avuga boda ku siteegi ya Lupaalanga e Masajja.
Eggulo ku Lwokusatu, poliisi yazzeeyo mu kazigo Muliika k’abadde apangisa mwe yasanze ebintu bya Katusiime okwabadde; ekitanda, omufaliso, ensawo z’omugenzi, firiigi n’ebintu ebirala era byaweereddwa abooluganda lwa Katusiime ne babitwala. Omulambo gwa Katusiime gwatwaliddwa mu ggwanika e Mulago. Ssentebe wa LCI mu kitundu kino, Wasswa Luwandagga,yagambye kisuubirwa omuwala yamusse ku Mmande ekiro olwo ku Lwokubiri n’atandika okusomba ebintu mpolampola okubiggya mu nnyumba. Omwogozi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Racheal
Kawala, yagambye nti baakutte omuvuzi wa boda, Fred Ssegawa agambibwa okuyamba ku Muliika, okusomba ebimu ku bintu annyonnyole ku ttemu lino