Amawulire

SUZAN Kushaba asindikiddwa ku alimanda e Luzira lwa kuvuma Minisita Kabanda

SUZAN Kushaba asindikiddwa ku alimanda lwakuvuma minisita Kabanda Ayali akulira akatale ka St Balikuddembe Suzan Kushaba 46 omutuuze we Namugongo Butto mu disitulikiti ye Mukono asindikiddwa ku meere e Luzira ku bigambibwa okuvuma Min.Minsa Kabanda ne Kyofatogabye.

Suzan Kushaba ng'ali mu kaguli
By: Harriet Nakalema, Journalist @New Vision

SUZAN Kushaba asindikiddwa ku alimanda lwakuvuma minisita Kabanda 

Ayali akulira akatale ka St Balikuddembe Suzan Kushaba 46 omutuuze we Namugongo Butto mu disitulikiti ye Mukono asindikiddwa ku meere e Luzira ku bigambibwa okuvuma Min.Minsa Kabanda ne Kyofatogabye.

Ono asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda road Ritah Neumbe Kidasa n'amusomera emisango esatu egyokuvuma abantu basatu gyonna n'agyegaana.

Kigambibwa nti wakati w'omwezi gwa January ne October,2026mu bitundu bye Mukono ne Kampala nga ayita ku mukutu gwe ogwa Tiktok oguli mu mannya ga @The Investigator Ug, yaweereza obubaka obutali butuufu ku Minisita Kabanda nga bwali omufere era omubbi w'ettaka.

Suzan Kushaba ng'ali mu kaguli ka kkooti

Suzan Kushaba ng'ali mu kaguli ka kkooti

Era oludda oluwabi lugamba nti mu kiseera kyekyimu yaweereza obubaka nga agamba nti Minisita Joseph Kyofatogabye mukumpanya era yabba ssente ku bavuzi ba booda ne takisi.

Ono teyakoma okwo era nga ayita ku mukutu gwegumu,yategeeza nga Muzamir Mirundi Katumba bweyabba ettaka erisangibwa e Kamwokya okutudde essomero lya KCC erya pulayimale.

Omuwabi wa gavumenti mu musango guno Allan Mucunguzi ategeezezza kkooti nga okunoonyereza bwekukyagenda mu maaso n'asaba obudde okwongera okumanya engeri Kushaba bweyazza omusango.

Ono nga ayita mu bannamateeka be okubadde Robert Bautu, asabye okweyimirirwa mwayaletedde abayima basatu okubadde Sam Bukenya owa Ngabi Chemicals,Paddy Kawuma owa BF Suma ne Ben Sserugo nga ono mulamu we.

Basabye omulamuzi akkirize okuyimbula Kushaba ku kakalu ka kkooti era ne bategeeza nga omuntu waabwe bwatasobola kufuluma ggwanga kuba yasobodde okwereeta mu kkooti awatali kusindiikirizibwa.

Omuwabi wa gavumenti kino awakanyizza okusaba kwabwe n'ategeeza nga bwebetaaga obudde okunoonyereza ku biwandiiko byabayima ebitereddwamu mu kkooti 

Omulamuzi akkirizza okuwulira okusaba kwa Mucunguzi nasindika Kushaba ku meere e Luzira okutuusa nga November 17, kkooti lwenaddamu okusaba kwebatadde okwokusaba okweyimirirwa.

Tags: