Poliisi ya Jinja Road nga bali wamu n’eya CPS mu Kampala, bakutte abantu 18, oluvannyuma lw’ekikwekweto kye bakoze mu basuubuzi abatunda sipeeya w’emmotoka mu katale k’ewa Kisekka.

Xk 5
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Rachael Kawala ategeezezza nti, okukola ekikwekweto kino kyaddiridde okwemulugunya okuva mu bagoba b’emmotoka olw’omuze gw’okubba ebyuuma naddala sayidi mmira ku mmotoka zaabwe nga bali mu jjaamu oba mu maka gaabwe gye bazisuza.

Xk 12
Poliisi egamba nti, abakwattiddwa bagenda kusunsulwamu abanaasangibwa n’obujulizi obumala, batwalibwe mu kkooti bavunaanibwe emisango gy’obubbi n’okugula ebibbe.
Poliisi egamba nti omuze gw’okubba ebyuuma ku mmotoka gusinga kubeera ku luguudo lwa Kamapa, Jinja Road, Ntinda, Nakawa ku bitaala, lugogo, n’ebitundu ebirala

Xk 24