Amawulire

OMUVUZI wa boda boda abooluganda lwe gwe babadde banoonya nga basuubira nti osanga baamutta, bamuzudde nga baamukwatira mu bubbi bwa pikipiki e Mubende

OMUVUZI wa boda boda abooluganda lwe gwe babadde banoonya nga basuubira nti osanga baamutta, bamuzudde nga baamukwatira mu bubbi bwa pikipiki e Mubende.

Christoper Ssempa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMUVUZI wa boda boda abooluganda lwe gwe babadde banoonya nga basuubira nti osanga baamutta, bamuzudde nga baamukwatira mu bubbi bwa pikipiki e Mubende.

Christoper Ssempa owa boda kigambibwa nti yabula nga October 27 omwaka guno, bwe yali ava mu bitundu by'e Mpigi ng'avuga pikipiki nnamba UGA 567R era okuva olwo, babadde bamuyigga.

Omu ku bannyina,yategeezezza nti baali baaggulawo omusango gw'okubula ku poliisi e Mpigi ku Ref nnamba 16/29/10/2026 era ne batandika okunoonya mu bifo eby'enjawulo omuli , amalwaliro , eggwanika, ne bamubulwa.

Omwogezi wa poliisi e Katonga, Lydia Tushabe, ategeezezza nti mu kunoonyereza kwe baakoze, bakizudde ng'omuvubuka baamukwata ne bamuggalira ku poliisi e Mubende ku by'ekuusa ku bubbi bwa pikipiki era ng'okunoonyereza, kugenda mu maaso.

Tags: