OMUVUZI wa boda boda abooluganda lwe gwe babadde banoonya nga basuubira nti osanga baamutta, bamuzudde nga baamukwatira mu bubbi bwa pikipiki e Mubende.
Christoper Ssempa owa boda kigambibwa nti yabula nga October 27 omwaka guno, bwe yali ava mu bitundu by'e Mpigi ng'avuga pikipiki nnamba UGA 567R era okuva olwo, babadde bamuyigga.
Omwogezi wa poliisi e Katonga, Lydia Tushabe, ategeezezza nti mu kunoonyereza kwe baakoze, bakizudde ng'omuvubuka baamukwata ne bamuggalira ku poliisi e Mubende ku by'ekuusa ku bubbi bwa pikipiki era ng'okunoonyereza, kugenda mu maaso.