Amawulire

Ababaka abasajja bonna bagenda kukeberebwa olwaleero okukakasa nti balamu

MINISITULE y’ebyobulamu eteeseteese okukebeza ababaka ba palamenti abasajja bonna okuzuula endwadde ezibaluma n’okulaba nga bafuna obujjanjjabi ng’obudde bukyali okusigala nga balamu.

Ababaka abasajja bonna bagenda kukeberebwa olwaleero okukakasa nti balamu
By: Teopista Nakamya, Journalist @New Vision

MINISITULE y’ebyobulamu eteeseteese okukebeza ababaka ba palamenti abasajja bonna okuzuula endwadde ezibaluma n’okulaba nga bafuna obujjanjjabi ng’obudde bukyali okusigala nga balamu.

 

Kino kyakukolebwa olwaleero ku Lwokusatu  ng’omu ku kaweefube w’okwegatta ku nsi yonna okuzza olunaku lw’abasajja olubeerayo nga November 19 buli mwaka.

 

Ezimu ku ndwadde ezigenda okukeberebwa kuliko puleesa, ssukaali, akawuka akaleeta mukenenya , kookolo w’enseke (prostate cancer) n’endwadde eziringa ezo.

 

Sipiika wa palamenti, Jacob Oboth bw’abadde aggulawo olutuula lwa palamenti leero, yakuutidde ababaka ba palamenti abasajja bonna okujjumbira enteekateeka eno okulaba bwe bayimiridde mu nsonga z’ebyobulamu.

 

Eri abo abataalabikeko agambye bajja kutwalibwa nga ababaka abatali siriyaasi era amannya gasomebwe lwatu buli omu abamanye.

 

Ebitundu bye bakiikirira yategeezezza nti bibeetaaga balamu okubatuusaako empeereza ennungi n’olwensonga eyo nga kibakakatako okubeerawo okwekebeza.

 

Enteekateeka ababaka abasajja bajaanirizza kyokka ababaka abakazi nga bakulembeddwa Christine Apolot (mukazi Kumi)  nabo basabye  enteekateeka yeemu y’eba ebategekerwa ng’olunaku lw’abakyala olubeerayo buli mwaka mu mwezi gw’okusatu nga lutuuse.

 

Yayongerezzaako nti, enteekateeka y’okukebeza abasajja tesaana kukoma ku babaka ba palamenti bokka wabula etuuke ne mu malwaliro ku ggombola abasajja abalala bajiganyulwemu.

 

Ababaka bakakasizza ekirwadde kya kkansa okweyongera  mu ggwanga era nga buli muntu yeetaagisa okufaayo ennyo eri obulamu okuyita mu kwekebeza .

 

Omubaka Ann Maria Nankabirwa (Mukazi/Kyankwanzi) kkansa okweyongera yakitadde ku ddagala erikozesebwa okufuuyira ebirime erivuddeko abantu okulwala era n’asaba gavumenti ebeeko ky’ekolawo.

Tags:
Amawulire
Lwaleero
Kukakasa
Palamenti
Basajja
Kukeberebwa
Kukebera
Babaka