Irene Ssuubi Nakakaawa yaleeteddwa mu kkooti ya Cityhall okuwa obujulizi mu musango guno n’ategeeza nti nga January 24, 2026, Richard Sserwadda yamukubira essimu ng’ayagala kumuwola ssente wabula nga talina.
Oluvannyuma lw'omwezi gumu Sserwadda yasasula ssente ezo naye era bwe waayitawo emyezi nga etaano Katongole yakubira Nakakaawa n’amutegeeza nti Sserwadda yeetaaga ssente endala.
Yakomawo n’abatunza emmotoka ye ne bamuwa ssente wabula ne wabaawo abaabalumba nga balumiriza emmotoka okubeera eyaabwe era ne bagitwala.
Nakakaawa yagezaako okunoonya Sserwadda wabula ng’amassimu tagakwata okutuusa lwe yakyusa enamba y'essimu n’alyoka agikwata naye n’amugamba nti ensonga ezo zaali tezimukwatako.
Bannannyini mmotoka baakwata Ssuubi abalagirire awaali Sserwadda okutuusa naye lwe yafuna omuserikale gwe yagenda naye ku kkanisa ya Sserwadda gwe baasanga ku kituuti ng’abuulira enjiri ku ne bamukwata.
Omuwaabi wa Gavumenti Mercy Yamangusho Khaidara yasabye kkooti ebawe olunaku olulala okuleeta omuserikale eyakola okunoonyereza ku musango guno okuwa obujulizi, omulamuzi Nicholas Aisu omusango n’agwongezaayo okutuusa nga December 9, 2026
Okusinziira ku mpaaba, kigambibwa nti, nga January 24, 2025 e Nakawa Richard Sserwadda n'abalala abakyanoonyezebwa n'ekigendererwa ky'okufera baafuna ssente 15, 600,000 okuva ku Edward Katongole nga bamulimbye okumutunza ekika ky'emmotoka Noah UBQ 240 N ky’ataatuukiriza.