Amawulire

ABABAKA ba Palamenti bakunyizza aba kkampuni eyaweebwa ttenda y’okukola nnamba puleeti za digito olw’okukola akasoobo.

ABABAKA ba Palamenti bakunyizza aba kkampuni eyaweebwa ttenda y’okukola nnamba puleeti za digito olw’okukola akasoobo.

Maneja wa kkampuni ekola nnamba z’emmotoka, Damir Makhmutov nga yeeyanjula mu kakiiko.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABABAKA ba Palamenti bakunyizza aba kkampuni eyaweebwa ttenda y’okukola nnamba puleeti za digito olw’okukola akasoobo.
Baabadde mu kakiiko ka Palamenti akalondoola eby’entambula n’enguudo, bwe kaabadde kasisinkanye akulira kkampuni ya Joint Stock Global Security eyaweebwa ttenda y’okukola nnamba puleeti za digito.

Ensisinkano yeetabiddwaamu abavuga ebidduka okwabadde aba bodaboda nga baakulembeddwa ssentebe waabwe, Frank Mawejje, abagoba ba bbaasi, ekibiina ekitaba bannamakolero mu ggwanga n’ekitongole ekivunaanyizibwa okukung’aanya omusolo mu ggwanga.
Mawejje yategeezezza nti ssinga bawa kkampuni endala omulimu gw’okukola nnamba puleeti za digito, osanga banaafuna obuweereza obulungi kubanga mu kiseera kino baseerebwa ate nga kkampuni emirimu egikola kasoobo.
Mu kiseera kino, okufuna nnamba puleeti ya digito osasula 714,300/- ze baagambye nti nnyingi nnyo.
Akulira ekibiina ekitaba bannamakolero mu ggwanga, Ezra Muhumuza yasabye kkampuni endala ezaali zikola omulimu guno ikkirizibwe okuddamu okukola okuyamba abasuubula ebidduka obutafiirizibwa.
Kaminsona mu kitongole ky’ebyemisolo, Abel Kagumire nga ye yakiikiridde akikulira, John Musinguzi yategeezezza nti, bo baggya omusolo ku buli kidduka ekiyingira mu ggwanga, wabula beewuunya kkampuni ya Joint Stock Global Security Limited,
olw’engeri gy’ekolamu emirimu gyayo akasoobo, ekifiiriza abasuubuzi. Akakiiko oluvannyuma lw’okukunya maneja wa kkampuni eno, Damir Makhmutov beewuunyizza
bwe yategeezezza nti si be bakola nnamba puleeti wabula baziggya bweru wa ggwanga. Yannyonnyodde nti olutalo wakati wa America ne Iran lulina engeri gye lutaataaganyizzaamu empeereza yaabwe nga y’ensonga lwaki emirimu tegitambula.
Ababaka baayise aba minisitule y’ebyentambula bannyonnyole ku nsonga eno.

Tags: