Amawulire

Baagala akakiiko ka disitulikiti y'e Kyotera akagaba emirimu kagobebwe

OLUKIIKO lwa bakkansala abakola kkanso ku disitulikiti y’e Kyotera lusembye okugoba akakiiko ka disitulikiti eno akagaba emirimu aka District Service Commission nga bakalumiriza obulyake, okugaba  emirimu ku bantu abatalina bisaanyizo n’okusooka okuggya ensimbi ku bantu abaweebwa emirimo.

Baagala akakiiko ka disitulikiti y'e Kyotera akagaba emirimu kagobebwe
By: John Bosco Mulyowa, Journalist @New Vision

Kino kyaddiridde minisita Justine Lumumba okugenda e Kyotera ne bamuloopera vvulugu akolebwa akakiiko kano.

Nalubowa akulira akakiiko kano.

Nalubowa akulira akakiiko kano.

Ono yasabye wabeewo okunoonyereza era ekyalebwa akakiiko ka bakkansala ku disitulikiti abavuddeyo n’alipoota esemba okugoba ssentebe w’akakiiko kano, Rose Nalubowa ne banne.

Bakkansala nga bateeka emikono ku kiwandiiko.

Bakkansala nga bateeka emikono ku kiwandiiko.

Ensonga eno bajanjadde mu maaso g’akakiiko ka kkanso ebadde ekubirizibwa Sipiika Francis Lubinga. Mu kiseera kino bakkansala babaze ekiwandiiko okugoba Nalubowa ne banne era bataandise okukissaako emikono egikisemba!  Wabula, Nalubowa ye yategeezezza nti bano tebalina buyinza kumugoba.

 

Tags:
Amawulire