Bya Stuart Yiga ne Margaret Zalwango
OMUWAABI wa gavumenti omukulu, Lino Anguzu, avuddeyo n'atangaaza ku mukazi RoseTusiime, eyavaako okuttibwa kw'omuyimbi Moses Matovu, nti tagenda kuggulwaako musango gwonna.

Tumusiime Rose ng'atuuka ku kkooti
Omuwaabi wa gavumenti okuvaayo, kiddiridde okwemulugunya okubaddewo mu bantu nga beewuunya ensonga lwaki omukazi eyavaako kalunsambulira, ate bwe yalabikako ku kkooti, nga September, 28, teyayingizibwa mu kaguli nga bwe gwaali ku muganziwe Nsamba.

Rose Tumusiime ng'atuuka ku kkooti
Nsamba yasomerwa emisango gy'obutemu era n'asindikibwa ku meere e Luzira, wakati mu bukuumi obw'ekitalo, gy'anaava addizibwe mu kkooti nga November, 3rd, 2026.
Anguzu okwogera bino, abadde mu nsisinkano n'Abamawulire, ng'ekitongole ky'akulira kikuba ttooci mu buweereza bwaakyo mu myaka etaano egiyise n'okusala enttotto ku ngeri gye kiyinza okwongera okutumbula obwenkanya mu kkooti eri Bannayuganda.