PULEZIDENTI Museveni alagidde ababaka ba NRM beeyambise enkola ya minisita wa Gavumenti z’ebitundu, Balaam Barugahara ey’okulwanyisa obuli bw’enguzi kuba eri ku mulamwa eggwanga lye gwetaaga.
Yasinzidde mu lukiiko lw’akabondo k’ababaka ba NRM olwatudde ku kisaawe e Kololo ku Lwokutaano. Yagambye nti, enkola ya Balaam nnungi kuba ebazzaayo ku mulamwa gwennyini ogw’ebiseera Gavumenti ya NRM we yajjira mu buyinza.
Ababaka yabasabye okuddayo mu bantu boogere nabo bamanye ebibanyiga n'okulondoola pulogulaamu za Gavumenti batereeze aweetaaga okutereeza.
“Balaam ne Nameere kye bakola kwe kulwanyisa abali b’enguzi era y’ensonga lwaki nabateeka mu minisitule ya Gavumenti ez’ebitundu. Nammwe mukole ebintu by’ebimu nga mutegeka enkung’aana za Baraza okusinga okulinda okwogerera ku mikolo egitegekeddwa ku bintu ebirala, ” Pulezidenti bwe yagambye.
Pulezidenti yavumiridde eky’abakulembeze okutegeka emikolo ne bagabula emmere ne sooda n’agamba balina kugonjoola bizibu ebinyiga abantu.
N'agamba, era buvunaanyizibwa bw'ababaka okulondoola ssente za PDM bakakase nga ziweereddwa abantu abatuufu era ne bakakasa nti bazizza.
Ku byokwerinda, Pulezidenti yalagidde poliisi eyongeremu amaanyi kuba yakitegeddeko nti, abantu 15 battiddwa gye buvuddeko mu disitulikiti y'e Ibanda, obubbi bw’ente bungi e Kyankwanzi nga n'e Kagadi bakaaba.
Nnampala wa Gavumenti, Ruth Aceng yategeezezza Pulezidenti nti, ekibiina kya NRM kirina emisango gy’ebyokulonda 75 egirimu ababaka n’abaakikwatira bendera mu kulonda okuwedde n’asaba bayambibweko naddala ku nsonga ya bannamateeka ababawolereza.
Laura Kanushu (mukazi/Balema) yaloopedde Pulezidenti nga bwe waliwo ababulankanya ssente z’abaliko obulemu eza PDM ne zitatuuka ku bannyini zo, ekintu Pulezidenti kye yavumiridde n’asuubiza okukirondoola.
BAYISIZZA EBITEESO
Mu nkomerero, ababaka baayisizza ebiteeso mwenda okuli; okulwanyisa enguzi n’okulondoola pulojekiti za Gavumenti, okunyweza ebyokwerinda, n’okulondoola obuweereza bwonna. Ku ky’okulwanyisa obuli bw’enguzi, baagambye bagenda kutandika okukka mu bantu bategeere ebizibu ebinyiga abalonzi. Baasazeewo okwongera amaanyi mu kulwanyisa obumenyi bw’amateeka nga balwanyisa obubbi bw’ebisolo, obubbi bw’emmwaanyi, ebikolwa by’ettemu nga bakolaganana n’ebitongole ebivunaanyizibwa.