ABAFFAMIRE y'omugenzi Emmanuel Kayemba Kibinduula e Kabira mu disitulikiti y'e Kyotera batabukidde mu lumbe lw'owooluganda lwabwe ne balaga obutali bumativu ku nfa ye.
Omugenzi Mathias Kibuule 56, kigambibwa yafudde oluvannyuma lw'abasawo mu ddwaaliro ekkulu e Masaka okumuwa eddagala n'okumuteekako omusaayi ekika ekitali kikye. Okusinziira ku booluganda lw'omugenzi okuli; Nakamanya Maria, Ssaalongo Kiyimba n'abalala, omuntu waabwe aludde ng'atawaanyizibwa ekirwadde kya sikosseero era ng'atambulira ku ddagala, erimannyiddwa kyokka beewuunyizza okutuuka mu ddwaaliro e Masaka ate abasawo ne bakyusa ekika ky'omusaayi gwe baludde nga bamuteekako ne bamuwa ekika ekirala!
Josephine Nankya nga y'abadde ajjanjaba Kibuule annyonnyodde nti omugenzi yagezezzaako okwegayirira abasawo obutamussaako musaayi ogutali gwa kika kye, nga ne batamuwuliriza n'ekyadiridde mulwadde kutabuka n'afa.
Kati bano basinzidde Kabira mu kuziika omugenzi ne basaba Gavumenti ne minisitule y'ebyobulamu okuyingira mu nsonga zaabwe.
Bukedde yatuukiridde akulira okujjanjaba endwadde z'abantu abakulu mu ddwaaliro e Masaka, Dr. Shallon Nnamiiro n'agamba nti emitendera gyonna omuntu gy'ayisibwamu ng'anaateekebwako omusaayi baagigoberedde bulungi era ne bakakasa nti ekika ky'omusaayi gw'omugenzi kikwataganira ddala n'ogwo gwe baamutaddeko.
Asper Mugabe nga naye musawo mu ddwaaliro lino ng'era y'akola ng'omwogezi waalyo, yasabye ffamire y'omugenzi okubatuukirira bongere okubannyonnyola ebyafulumidde ku lipoota y'enfa y'omuntu waabwe.
Ye Dr. Erias Namanya ng'ono musawo mukugu mu by'omusaayi ng'akola n'ekitongole ekigubunyisa mu Masaka yagambye nti, engeri nnyingi eziviirako omuntu okufuna obuzibu oluusi n'okufa singa aba ateereddwaako omusaayi. N'agamba, mu bino mulimu; singa omusaayi gumala ebbanga ddene nga tegukuumiddwa bulungi, oba okuwa omuntu omusaayi ogutafaanagana n'ogwo gw'alina n'asaba abantu okukyewalangat