Amawulire

Ensonga za ADF zisibizza ba mbega ba Gav't

KKOOTI y’amaggye e Makindye esingisizza ba mbega ba gavumenti ku nsonga za ADF babiri emisango gy’okukola omupango gw’okutega bbomu mu Kampala.

Hamza Lyavaala ne Walusansa Adiil mu kadukulu ka kkooti
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

KKOOTI y’amaggye e Makindye esingisizza ba mbega ba gavumenti ku nsonga za ADF babiri emisango gy’okukola omupango gw’okutega bbomu mu Kampala.
Hamza Lyavaala ne Walusansa Adiil babadde mu kkooti ekubirizibwa ssentebe Brig Gen Richard Tukacungurwa ne bakkiriza emisango gy’okutta abantu e Munyonyo ne Kalerwe mu June 2025. 

Ebikwata ku musango ebireeteddwa omuwaabi wa gavumenti Lt Regina Nanzaala biraga nti ababiri bano nga baaliko abayeekera ba ADF okwawukanako ne byebaali babuulira abeebyokwrinda, nti beenyigira butereevu mu kuluka olukwe olwaviirako okutta Sumaya Byaruhanga ne Sawiya Azatu mu bbomu ezakubwa nga June 3 e Munyonyo ne nga June 21 Kalerwe.

Ebyasomeddwa byonna ababiri bakkirizza nti bituufu.
Bano bavunaanibwa wamu ne Lieutenant Colonel Ephraim Byaruhanga nga ye akalambidde nti tabimanyiiko.

Olukwe lw'okutega bbomu zino baalukolera mu wooteri ya Goers e Namulanda ku luguudo lw’e Ntebe.
Nanzaala ategeezezza kkooti nti Byruhanga yasisinkana Lwavaala ne Walusansa nabategeeza ku pulaani gyeyalina era nabalagira bafune omukazi anaakola omulimu olwo Bayruhanga naawa Walusansa ssente apangise ennyumba e Kinaawa.
Oluvannyuma baafuna omukazi Sumaya okuva e Busoga era nebatageeza nti mission esooka yakubawo ku lunaku lwabajulizi nti Byaruhanga yali agenda kubuulira Gen Otto ku butujju buno olwo ku lunaku lwenyini Lyavaala ne Walusansa nebavuga ku lunaku olwo abeebyokwerinda bonna baali bategeeza ku butujju bwebaali bategeddeko nga bali bulindaala okufufugazza abatujju era bwekyali.
Omukazi Byaruhanga olwo yasimbula okuva e Kunaawa nayolekera ne bbomu okuyita ku Lutindo olwokukiggwa e Munyonyo bbomu webatukira naafirawo.
Nga wayise wiiki emu Lt Col Byaruhanga era yaddamu oluka olukwe olulala era nebafuna omusajja Kasimu yeetulisizeeko bbomu ngono yeyaaleta Azatu olwo bbomu nebaatira Kalerwe.
Nanzala bwatyo asabye kkooti bano ebawe ekibonerezo ekikakali wabula munnamateeka aabwe Maj Simon Busagwa ategezezza nti abasajja bakyali bato ngera bakyasobola okukyusa neeyisa yaabwe ngate balina abakyala nabaana bebalabirira .
Kkooti egenda kubasalira nga October 12,2026.

Tags: