Amawulire

Ssentebe asimattuse okuttibwa abantu bwebamukozeeko obulumbaganyi ne booca emmotoka ye

SSENTEBE  asimatuse okuttibwa abatamanyangamba bwebalumbye amakage mu kiro ekikeesezza olunaku olwa leero ne bateekera emmotoka ye omuliro kwossa n'okwasa endabirwamu z'ennyumba.   

Emmotoka eyayokeddwa
By: Phiona Nanyomo, Journalist @New Vision

SSENTEBE  asimatuse okuttibwa abatamanyangamba bwebalumbye amakage mu kiro ekikeesezza olunaku olwa leero ne bateekera emmotoka ye omuliro kwossa n'okwasa endabirwamu z'ennyumba.

Emmotoka eyayokeddwa

Emmotoka eyayokeddwa

Bino bibadde ku kyalo Bujja mu divizoni ya Nyendo Mukungwe mu kibuga Masaka nga kiteeberezebwa  nti entabwe yavudde ku Ssentebe Tom Ssekalegga okulemera sitampu oluvanyuma lw'okumuwangula mu kalulu Ka bassentebe akaakaggwa.
Kigambibwa nti Ssekalegga yali amazze ku bwa Ssentebe bw'ekyalo kino emyaka egisoba 20 wabula mu kulonda okuwedde yakomawo okuvuganya ku kifo kye kimu n'abantu abalala 2 okuli Francis Sserwadda owa NRM ne Ponsiano Kiwanuka owa NUP agambibwa okuba nga yeyawangula.

Okusinziira ku mukyala we wa Ssekalegga, Scovia Nabukenya agamba nti basoose kulumbibwa misana nga abaana beebaliwo bokka ewaka era ne babaako ebintu byebakulise nabyo wabula mu kiro ate ne bakomawo  n'ekyadiridde kwabadde kwokya mmotoka ya bba  ekika kya Datsun nnamba UDN 822 kwossa okwaasa endabirwamu z'enyumba.

Emmotoka eyayokeddwa

Emmotoka eyayokeddwa


Wabula Kiwanuka gwebalumirizza okubeera emabega w'ekikolwa kino asambazze ebimwogerwako n'ategeeza nga naye bwaludde ng'alaajanira b'ekikwatako okubayambako okuggyako Ssekalegga Ono sitampu asobole okutambuza emirimu gy'ekyalo wabula nga naye abadde tanafuna kuyambibwa.

Poliisi ya Nyendo nga ekulembeddwamu omuddumizi waayo (DPC) John Kwesiga etuuse mu kifo era navumirira ekikolwa kino nagumya abatuuze nga okunoonyerezza bwekutandikiddewo okuzuula ddala ekituufu ekiri emabega w'obulumbaganyi.

Tags: