KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu okweyigiriza enkola y'okuyambanga bannaabwe mu nsonga z'obulamu ate n'okubakwatirangako mu nsonga z'enkulakulana.

Katikkiro ng'akutte cceeke
Katikkiro Mayiga okwogera bino asinzidde ku Ddwaliro lye Nkozi- Mpigi mu ssaza ly'e Mawokota gyagenze okulambula omulimu gw'okuzimba waadi enajjanjaba abantu abagudde ku bubenje n'okubakwasa ssente obukadde 510 ezaakunganyizibwa Obwakabaka ne Bannamukago baabwo okuyamba ku mulimu guno oguusubirwa okumalawo obuwumbi obusukka obuwumbi omusanvu.

Katikkiro Mayiga ng'atuuka e Nkozi
Omumyuka owokubiri owa Katikkiro era Omuwanikka wa Buganda, Munnalotale Robert Waggwa Nsibirwa nga ye Ssentebe w'olukiiko olukulembeddemu omulimo guno awadde obweyamu nti bakukola ekisoboka kyona okulaba nga omulimo guggwera mubudde kyokka n'asaba ebitongole ebirala okuvaayo okulabira ku Centenary Bank, MTN n'ebirala ebivuddeyo ku mulimu guno nabyo biguwagire.

Mo 76
Ying. John Wilson Ssendikwanawa Kasibante ku lw'abazimbi anyonyodde ng'omulimu bwebaaguddamu buto nga batandikira ku kupima ettaka kubanga eriri mu kifo kino lya bumba nebesanga nga balina okusima wansi fuuti 10 nga gyebatandikira okuzimba.
Ying. Ssendikwanawa agambye nti wadde enzimba eyo etutte ssente nnyingi naye ekizimbe bakizimbidde ku mutendera gwa nsi yonna.
Omukolo guno gwetabiddwako Akuuma entebe y'omwami w'essaza lye Mawokota, Kayima Hajj Hassan Kagga, Omubaka Omukyala owe Mpigi mu Palamenti, Teddy Nambooze, Omumyuka w'Omubaka wa gavumenti e Mpigi Hajj Saad Mwanje, akulira bboodi y'eddwaliro lye Nkozi Dr. Richard Kabanda n'abakulembeze abalala bangi