Amawulire

Gwe baawa ppiki okugivuga ekibaluwa n'asenguka nayo ku kyalo bamukwatidde ku Gaddafi Road mu Kampala

OMUVUBUKA gwe baawa pikipiki okugivuga bbooda n’asalawo okugibba n’asenguka ku kyalo bagikwatidde ku Gadhafi Road ng’alina gw’agiwadde okugivuga ekibaluwa .

Gwe baawa ppiki okugivuga ekibaluwa n'asenguka nayo ku kyalo bamukwatidde ku Gaddafi Road mu Kampala
By: Moses Lemisa, Journalist @New Vision

OMUVUBUKA gwe baawa pikipiki okugivuga bbooda n’asalawo okugibba n’asenguka ku kyalo bagikwatidde ku Gadhafi Road ng’alina gw’agiwadde okugivuga ekibaluwa .

Kkamera Za Poliisi Nga Ziraga Lubwama Ku Ppiki.

Kkamera Za Poliisi Nga Ziraga Lubwama Ku Ppiki.

George Lubwama eyali omutuuze w’e Nansana Ganda kigambibwa nti mu April w’omwaka guno yasaba Jonah Ssenyonga piki piki UFC  681K ey’okuvuga bodaboda wabula bwe baamala okugimuwa n’asalawo okusenguka ku kyalo nadda ku Kaleerwe  , Ssenyonga yaggulawo omusango ku poliisi y’e Kyebando Ganda abaserikale ne batandika omuyiggo .

Kkamera za Poliisi Nga Ziraga Lubwama Ku Piki Piki

Kkamera za Poliisi Nga Ziraga Lubwama Ku Piki Piki

Mugagga Lubega akulira eby’okwerinda mu Kiggundu zzooni  yagambye nti Lubwama baamulondodde ne kkamera za poliisi ez’oku kkubo nga piki piki baagikwatidde ku Gadhafi Road mu Kampala nga Lubwama alina gwe yagiwadde okugivuga ekibaluwa.

 

Ono ye  yabalagiridde Lubwama gy’abeera ku Kaleerwe  gye baamukwatidde mu Dobi zzooni n’atwalibwa ku poliisi e Kyebando Ganda ne banne abalala babiri okuli ayitibwa Mazongoto ne Musisi .

 

Ssenyonga  yategeezezza poliisi nti ng’amaze okuwa Lubwama piki piki yalowooza muntu mulamu wabula kyamubuukako okuddamu okukuba ku ssimu ze nga teziriiko okutuuka we yali apangisa yasanga asenguseewo, wabula ensonda zaategeezezza nti  Lubwama ne be yakwatiddwa nabo bamanyikiddwa mu bumenyi bw’amateeka obw’enjawulo ng’era bazze bakwatibwa poliisi ez’enjawulo .

 

Tags: