OMUVUBUKA gwe baawa pikipiki okugivuga bbooda n’asalawo okugibba n’asenguka ku kyalo bagikwatidde ku Gadhafi Road ng’alina gw’agiwadde okugivuga ekibaluwa .

Kkamera Za Poliisi Nga Ziraga Lubwama Ku Ppiki.

Kkamera za Poliisi Nga Ziraga Lubwama Ku Piki Piki
Mugagga Lubega akulira eby’okwerinda mu Kiggundu zzooni yagambye nti Lubwama baamulondodde ne kkamera za poliisi ez’oku kkubo nga piki piki baagikwatidde ku Gadhafi Road mu Kampala nga Lubwama alina gwe yagiwadde okugivuga ekibaluwa.
Ono ye yabalagiridde Lubwama gy’abeera ku Kaleerwe gye baamukwatidde mu Dobi zzooni n’atwalibwa ku poliisi e Kyebando Ganda ne banne abalala babiri okuli ayitibwa Mazongoto ne Musisi .
Ssenyonga yategeezezza poliisi nti ng’amaze okuwa Lubwama piki piki yalowooza muntu mulamu wabula kyamubuukako okuddamu okukuba ku ssimu ze nga teziriiko okutuuka we yali apangisa yasanga asenguseewo, wabula ensonda zaategeezezza nti Lubwama ne be yakwatiddwa nabo bamanyikiddwa mu bumenyi bw’amateeka obw’enjawulo ng’era bazze bakwatibwa poliisi ez’enjawulo .