OMUBAKA wa pulezidenti owa disitulikiti ye Kapchorwa Stanley Bayole asabye abazadde abasomesa n'abantu bonna okufaayo ennyo ku mbeera z'abaana naddala okusoma, eby'obulamu, ebyendya,ensula n'okubatangira ebikolwa ebityobola eddembe lyabwe.

RDC Bayole ng'azina ne Dr.Nandy akulira Unicef mu Uganda
Ng'omwaka guno emikulo emikulu gigenda kubeera mu disitulikiti ye Kapchorwa mu Sebei.
Bayole agamba nti abaana bangi batulugunyizibwa ssaako okutyobola eddembe lyabwe okuli ery'okusoma, okugemwa, okukomoola abakyala n'ebirala ngasabye buli muntu okusitukiramu okukomya ebikolwa bino.
Ono avumiridde ebikolwa byokutyobola eddembe ly'abaana ebyesigamizibwa ku buwangwa n'enzikiriza byagamba nti birina okukomezebwa.

Abasinze mu misinde gy'abawala
Agamba buvunaanyizibwa bwa bazadde okulabirira abaana baabwe mumbeera zonna era kimenya mateeka obutabutukiriza.
Ono alaze okwenyamora olw'omuwendo gw'abaana abatayaya ku nguudo ogweyongera mu bibuga ebyenjawulo byagamba nti bivudde ku bazadde n'embeera zebayisamu abaana baabwe.
Alabudde abantu bonna abenyigira mu bikolwa byokutyobola eddembe ly'abaana nabo abakwasiza amateeka ab'ekobana n'abatyobola eddembe ly'abaana nga bwatagenda ku batira ku liiso.
Ye akulira UNICEF mu Uganda Dr.Robin Nandy asabye abazadde, abasomesa n'abakulembeze okuyamba abaana okukuza ebitone byabwe n'okubikuza era n'okubayamba okwekumira mu ssomero.
Agambye nti emizannyo nga giwa abaana bonna omukisa okuvuganya n'okulaga talanta zaabwe nasaba buli muntu olwenyigira mu lutalo lw'okutyobola eddembe ly'abaana
Alaze obukulu bw'abazadde okukuumira abaana ab'obuwala mu masomero kyagamba nti kibatangira ebikolwa eby'okutyobola eddembe lyabwe.
Nandy alaze essanyu olw'ebitone ebizimbiddwa mu kitundu kino omuvudde abaddusi ku mutendere gwenso yonna okuli; Joshua Cheptegei, Stephen Kiprotich, Victor Kiplangat, Chemutai Peruth, Kipsiro Moses ne Jacob Kiplimo bagamba nti kyakulabirako eri abaana abato.
Oluvannyuma wabaddewo okuwa abaana abanywedde mu bannabwe akendo mu misinde satifukeeti n'emiddali.