Amawulire

Aba Uganda Law Society basiimye bannabitone

EKIBIINA ekigatta Bannamateeka mu ggwanga ekya Uganda Law Society kisiimye Bannabitone ab’enjawulo olw’omulimu ogw’amaanyi gwebakoze mu kuzimba eggwanga nga bakozesa ebitone byabwe Katonda byeyabawa.

Joanita ku kitebe ky'abannamateeka
By: Nsimbi Ponsiano, Journalist @New Vision

EKIBIINA ekigatta Bannamateeka mu ggwanga ekya Uganda Law Society kisiimye Bannabitone ab’enjawulo olw’omulimu ogw’amaanyi gwebakoze mu kuzimba eggwanga nga bakozesa ebitone byabwe Katonda byeyabawa.

Bino bibadde ku kitebe ky’ekibiina kino ku Acacia Avenue mu Kampala ku mukolo abakulembeze b’ekibiina kino bwebeeyamidde okukolaganira wamu ne Bannabitone okusobola okutumbula omulimu gwabwe mu ggwanga.

Mukasa Mbidde ng'ali ne bannamateeka abalala

Mukasa Mbidde ng'ali ne bannamateeka abalala

Mu basiimiddwa aba Uganda Law Society, mulimu eyali Pulezidenti w’ekibiina kino ate ng’era munnabitone omulamuzi Oscar Kihika, omukugu mu misono Monica Khatokho, omutontomi Xenson Ssenkaaba n’abalala olw’okukozesa ebitone byabwe mu kuzimba eggwanga.

Pulezidenti w’ekibiina kino Anthony Asiimwe agambye nti ensonga lwaki bo nga Bannamateeka basiimye bannabitone era n’okuggulawo enkolagana ey’omuggundo, kwekwagala okukolaganira awamu naddala mu ndagaano Bannabitone zebakola wamu n’abantu oba ebitongole ebye’njawulo ng’ezimu zibaviirako n’okufiirwa ssente zabwe olw’obuwayiiro obutaba bulungi obuziteekebwamu.

Ayongeddeko nti kino kye kiseera Bannabitone okumanya nti omulimu gwabwe gwa bbeeyi kumpi n’okusinga emirimu emirala kale nga beetaaga Bannamateeka okubayambako mu kugutereeza naddala nga bayingira mu ndagaano ez’enjawulo okwewala okufiirizibwa.

Abadde omugenyi omukulu ku mukolo guno Omulamuzi Oscar Kihika, asiimye enkolagana etandikiddwawo Bannamateeka ne Bannabitone kyokka n’alaga obwetaavu naddala mu kutereeza amateeka ageyambisibwa ku mutimbagano okusingira ddala enkozesa ya AI okusobola okwewala okugikozesa mu ngeri emenya amateeka.

Bannamateeka nga bali ne bannabitone

Bannamateeka nga bali ne bannabitone

Omuyimbi Joanita Kawalya nga naye abaddeyo ku mukolo guno, agambye nti mu myaka egiyise, Bannabitone tebafunye kimala kuva mu bitone byabwe olw’endagaano zebaakolanga nga zibanyigiriza kyokka n’alaga essanyu olw’enkolagana gyebatandiseewo ne Bannamateeka, nti wakiri bagenda kwogera okufuna mu bitone byabwe.

Munnamateeka Fred Mukasa Mbidde alaze obwenyamivu olw’okuba Uganda si yeemu ku nsi ezisinga okufuna ssente okuva mu bitone bya Bannansi n’abasaba ababirina okubaako kyebakola okwongera okufuna mu mulimu gwabwe.

Tags: