OMUSERIKALE w'ekitongole ky'obwannannyini ekikuumi bamukutte n'enkoko ssatu ezigambibwa okuba enzibe ng'azipakidde mu kutiya n'ebyuma ebimenya enzigi mu kiro ekikeesezza olwaleero.
Babasanze n'obwambe, ebyuma ebyeyasimbisibwa mu kumenya, enjaga , ebintu ebigambibwa okuba ebibbe era ng'okubasunsulamu kugenda mu maaso ku poliisi ez’enjawulo gye babakuumira.
Poliisi egenda mu maaso n'ebikwekweto bino, okusobozesa abantu okuyita obulungi mu nnaku enkulu nga baggyamu abo, abagambibwa okwenyigira mu kubba, okusala ensawo n'emize emirala.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, ategeezezza nti nga bamaze okubasunsulamu, baakutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe emisango egy’enjawulo.