Amawulire

Ekitongole ky'amakomera kisiimye abakozi baakyo abasinze mu by'obulimi n'obulunzi

EKITONGOLE ky'amakomera mu ggwanga, kiwadde ebirabo eri abasirikale abasinze okukola obulungi mu bulimi n'obulunzi awamu ne bbalakisi omuli faamu ezisinze okukola obulungi.

Akulira ekitongole ky'amakomera Dr Johnson Byabashija ng'awaawo engule
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

EKITONGOLE ky'amakomera mu ggwanga, kiwadde ebirabo eri abasirikale abasinze okukola obulungi mu bulimi n'obulunzi awamu ne bbalakisi omuli faamu ezisinze okukola obulungi.

Mim 8

Mim 8

Ebirabo bino, bibakwasiddwa akulira ekitongole ky'amakomera mu ggwanga Dr. Johnson Byabashaija ku mukolo abasirikale ab'amadaala agawaggulu kwe basisinkanira buli mwaka okwekubamu ttooki ogumanyiddwa nga { KACOKE MADIT}.

Abawereddwa ebirabo, b'ebo abasinze okukola obulungi mu bulimi, obulunzi, okukozesa ebulungi ebintu ebibaweebwa, okwongera omutindo ku byebalima n'okukwata obulungi ebyo , bye babeera bakungudde, awamu n'amagezi agekikugu.

Mim 8

Mim 8

Mu kulima kasooli, Uganda Prison Farm Ibuga yesinze, ate Lugore n'ekwata ekyokubiri. Rukooki yesinze okulima pamba n'edirirwa Mubuku. Ate abasinze mu nsigo za kasooli ye Ruimi n'ediririrwa Amita.

Rukooki era y'esinze mu kulima soya  n'edirirwa Kitalya, Aswa 1 yesinze okulima sunflower  n'edirirwa Mubuku.

Min 5

Min 5

Asst Agricultural Officer Denis Wadria  owa Aswa 11 yawereddwa ekirabo olwokwongera amaanyi mu bulimi,  Chief Warder 11 Joel Kirya  yayasinze mu kulima enva endiirwa , okwolesa n'okukozesa amagezi agekikugu.

Mu bulunzi , Uganda Prison Forportal y'eridde empanga ne Lugore nebeera yakubiri ate Prison Officer 11 Yonah Majambere n'afuna ekirabo nga y'asinze mu bulunzi ng'adirirwa Prison Officer 11 Godfrey Omeja

Min 84

Min 84

Byabashiaja yasiimye ebyo byonna ebituukiddwa era n'agamba nti okwolesa obulimi obwekikugu n'ennunda eyomulembe, byongera okuwa ababyetabamu obukugu n'okwongera okulaakulanya eggwa.

Tags: