EKITONGOLE ky'amakomera mu ggwanga, kiwadde ebirabo eri abasirikale abasinze okukola obulungi mu bulimi n'obulunzi awamu ne bbalakisi omuli faamu ezisinze okukola obulungi.

Mim 8
Abawereddwa ebirabo, b'ebo abasinze okukola obulungi mu bulimi, obulunzi, okukozesa ebulungi ebintu ebibaweebwa, okwongera omutindo ku byebalima n'okukwata obulungi ebyo , bye babeera bakungudde, awamu n'amagezi agekikugu.

Mim 8
Rukooki era y'esinze mu kulima soya n'edirirwa Kitalya, Aswa 1 yesinze okulima sunflower n'edirirwa Mubuku.

Min 5
Asst Agricultural Officer Denis Wadria owa Aswa 11 yawereddwa ekirabo olwokwongera amaanyi mu bulimi, Chief Warder 11 Joel Kirya yayasinze mu kulima enva endiirwa , okwolesa n'okukozesa amagezi agekikugu.
Mu bulunzi , Uganda Prison Forportal y'eridde empanga ne Lugore nebeera yakubiri ate Prison Officer 11 Yonah Majambere n'afuna ekirabo nga y'asinze mu bulunzi ng'adirirwa Prison Officer 11 Godfrey Omeja

Min 84
Byabashiaja yasiimye ebyo byonna ebituukiddwa era n'agamba nti okwolesa obulimi obwekikugu n'ennunda eyomulembe, byongera okuwa ababyetabamu obukugu n'okwongera okulaakulanya eggwa.