KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abasajja okwemanyiiza okutuulanga awamu ne bakyala baabwe bakole enteekateeka ezikulakulanya amaka gaabwe.
Mayiga era yawanjagidde abasajja okuteekerateekera ebiseera byabwe eby'omumaaso nga bakola ebiraamo nga tebannava mu bulamu bw'ensi kino kiwonye bakyala baabwe obutatawanyizibwa ab'enganda n'abekika ku by'obugagga byebalese.

Katikkiro ng'ali n'abakungu ba Buganda
Ttabamiruka ono nga ye w'omulundi ogw'okusatu yatambulidde ku mulamwa ogugamba nti " Abasajja basobozese Bakyala baabwe okwekulakulanya mu byenfuna, ku lw'obulungi bw'amaka"
Omubaka wa Palamenti owa Nnyendo-Mukungwe mu kibuga Masaka, Lubowa Ssebina Gyaviira, yabuulidde Katikkiro ng'abasajja bwebasusizza okusajalaata mu makka nga y'emu ku nsonga ezikonzibizza enkulakulana mu maka.
Omwami w'essaza ly'e Buddu, Pookino Jude Muleke yebaziza Kabaka olw'okusitula abasajja era n'okusiima Ttabamiruka ono ategekebwe mu ssaza lyaabwe, Buddu.

Ssewava ng'ayogera
Omubaka wa Pulezidenti ow'enjawulo ku nsonga za Buganda Ying. Joseph Sewava Mukasa yebaziza Obwakabaka olw'okuteekateeka emisomo egiyambye okukyusa embeera z'abantu mu Buganda ne Uganda okutwaliza bwatyo n'asaba abasajja okufubanga okutuukiriza obuvunanyizibwa bwaabwe mu maka n'okwagala bakyala baabwe.
Mu Tabamiruka ono abaami baasomeseddwa ku miramwa egy'enjawulo okuli ebyobulamu,Empuliziganya ennungi mu maka,Okulaama n'obusika,Okuteekateeka abaana abalenzi n'emiramwa emiralaera abamu ku basomeseza kubaddeko Ali Male,Munamateeka Denis Mukeera, Mukyala Kasozi.
Omukolo gwetabiddwako Abaami b'amasaza n'abakungu ba gavumenti bangi mu kibuga Masaka.