Amawulire

Katikkiro asabye abantu okwettanira okukola ebiraamo

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abasajja okwemanyiiza okutuulanga awamu ne bakyala baabwe bakole enteekateeka ezikulakulanya amaka gaabwe.

Katikkiro ng'ayogera
By: Dickson Kulumba, Journalist @New Vision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abasajja okwemanyiiza okutuulanga awamu ne bakyala baabwe bakole enteekateeka ezikulakulanya amaka gaabwe.

Mayiga era yawanjagidde abasajja okuteekerateekera ebiseera byabwe eby'omumaaso nga bakola ebiraamo nga tebannava mu bulamu bw'ensi kino kiwonye bakyala baabwe obutatawanyizibwa ab'enganda n'abekika ku by'obugagga byebalese.

Katikkiro Mayiga okwogera  bino yabadde aggalawo Ttabamiruka w'abasajja mu Buganda olunaku lw'eggulo nga yayindidde ku mbuga y'essaza ly'e Buddu esangibwa mu kibuga Masaka.

Katikkiro ng'ali n'abakungu ba Buganda

Katikkiro ng'ali n'abakungu ba Buganda

Ttabamiruka ono nga ye w'omulundi ogw'okusatu yatambulidde ku mulamwa ogugamba nti " Abasajja basobozese Bakyala baabwe okwekulakulanya mu byenfuna, ku lw'obulungi bw'amaka"

Ye Minisita avunanyizibwa ku bulimi n'obulunzi mu Buganda, Hajji Amiisi Kakomo y'abaddewo ku lwa  Minisita w'ekikula ky'abantu, Hajjati Mariam Mayanja ng'era yakubiriza abaami okutwala omulamwa gw'omwaka guno n'ebibasomeseddwa  ng'ekikulu era bwebaddawo awaka babiteeke mu nkola.

Omubaka wa Palamenti owa  Nnyendo-Mukungwe mu kibuga Masaka,  Lubowa Ssebina Gyaviira, yabuulidde Katikkiro  ng'abasajja bwebasusizza okusajalaata mu makka nga y'emu ku nsonga ezikonzibizza  enkulakulana mu maka.

Omwami w'essaza  ly'e Buddu, Pookino Jude Muleke yebaziza Kabaka olw'okusitula abasajja era n'okusiima Ttabamiruka ono ategekebwe mu ssaza lyaabwe, Buddu. 

Ssewava ng'ayogera

Ssewava ng'ayogera

Omubaka wa Pulezidenti ow'enjawulo ku nsonga za Buganda Ying. Joseph Sewava Mukasa yebaziza Obwakabaka olw'okuteekateeka emisomo egiyambye okukyusa embeera z'abantu mu Buganda ne Uganda okutwaliza bwatyo n'asaba abasajja okufubanga okutuukiriza obuvunanyizibwa bwaabwe mu maka n'okwagala bakyala baabwe.

Mu Tabamiruka ono abaami baasomeseddwa ku miramwa egy'enjawulo okuli  ebyobulamu,Empuliziganya ennungi mu maka,Okulaama n'obusika,Okuteekateeka abaana abalenzi n'emiramwa emiralaera abamu ku basomeseza kubaddeko Ali Male,Munamateeka Denis Mukeera, Mukyala Kasozi.

Omukolo gwetabiddwako Abaami b'amasaza n'abakungu ba gavumenti bangi mu kibuga Masaka.

Tags: