MINISITULE y’ebyenjigiriza eyongedde okunnyikiza ensoma empya eya National Competence-based Curriculum ng’emu ku nkola ey’okwongera obukugu mu bayizi eri emisomo gy’ebyemikono.
Ssekamatte bwe yabadde ku ssomero lya Bbira C/U abayizi we baayolesezza bye bakoze, yagambye nti abayizi bangi basobodde okuteekesa mu nkola bye basoma mu bitabo, okuzuula obusobozi bwabwe, okulaba obuyiiya, ssaako okwekkiririzaamu nga kalikyulaamu empya bw’erambika.
Yayongeddeko nti abasomesa tebalina kutegeka bayizi na byamubitabo byokka kyokka balina okubabangula ku ngeri gye basobola okubeeramu mu bulamu, ye nsonga lwaki ensoma empya eteekeddwako amaanyi mu bayizi abato.
“Ndabye abaana bye bakoze wano okuli ssabbuuni w’amazzi, kkeeki, ebiruke, okubumba ssaako ebintu ebirala, obukugu bwe bakozesezza nga bakyali bato bulaga nti ne bwe banaaba bamalirizza okusoma ebirala, bagenda kuba babangufu mu bintu bingi.” Ssekamatte bwe yayongeddeko.
Yasabye abazadde mu luwummula luno, obutawa baana baabwe masimu oba okubabeeza ku ttivvi, wabula bongere okubabangula ku bintu eby’enjawulo baddeyo ku ssomero nga bakuguse ekimala.
Sophie Nampijja akulira ekitongole kya Little Dreamers Education Academy, yategeezezza nti baalina omulamwa guno ogw’okusomesa abayizi ku buyiiya, era bwe baalaba nga gukwatagana n’ogwa Gavumenti ne basalawo okugenda mu masomero.
Yagambye nti nga bakwataganye ne minisitule y’ebyenjigiriza, balina essuubi nti bagenda kutalaaga disitulikiti ez’enjawulo, kuba mu Wakiso gye baatandikira enkola eno, abayizi kati basobola okwekolera ebintu ne babitunda ate ne biyamba abamu ku kusasula ffiizi.