Amawulire

Putin akubye entindo za Ukraine ez'enkizo

Kyiv, UKRAINEPULEZIDENTI wa Russia, Vladmir Putin akubye entindo za Ukraine bbiri ez’enkizo, n’alabula n’amawanga g’Abazungu nti agenda kuggyayo bbomu ya nukiriya abakoleko, singa bagezaako okumwang'anga.

Olumu ku ntindo za Ukraine olwakubiddwa Russia. Mu katono ye Putin.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Kyiv, UKRAINE
PULEZIDENTI wa Russia, Vladmir Putin akubye entindo za Ukraine bbiri ez’enkizo, n’alabula n’amawanga g’Abazungu nti agenda kuggyayo bbomu ya nukiriya abakoleko, singa bagezaako okumwang'anga.

Russia yatandika Lwakuna lwa wiiki ewedde okukuba entindo za Ukraine, era okuva olwo buli lunaku ebadde ekola obulumbaganyi obw’amaanyi, ekyongedde okukanga abatuuze mu kibuga Kyiv, olw’obulamu obutandise okukaluba.
Okusinziira ku mukutu gwa BBC, eggulo amagye ga Russia gaakubye olutindo lwa Pivnichnyi Bridge, olusangibwa mu bukiikakkono bw’ekibuga Kyiv, Gavumenti n’eyimiriza eby’entambula ku lutindo luno.
Ng’olutindo luno terunnakubibwa, Russia yasoose kukuba lutindo lwa Pivdennyi olusangibwa mu bukiikaddyo bwa Kyiv, ng’ekozesa ennyonyi ennwanyi ezeevuga zokka eza Drone, era abasaabaze abaabadde mu ggaali y’omukka, kaabuze kata balusuulemu akaba.
Olutindo lwa Pivdennyi lwe lumu ku ntindo ez’amaanyi ezisangibwa ku mugga Dnipro ogwawula obuvanjuba n’obugwanjuba bw’ekibuga Kyiv.
Pulezidenti wa Ukraine, Volodymyr Zelensky yagambye nti, baagudde ku biwandiiko ebiraga pulaani ya Putin empya, nga kati yalagidde amagye okukuba ebifo by’abantu ba bulijjo, okusobola okubagoba mu kibuga Kyiv n’ebibuga ebirala.
Omukutu gwa The Guardian gugamba nti ebiwandiiko Ukraine bye yasomodde, biragira amagye ga Russia okukuba amasomero, amalwaliro, enguudo n’ebirala, naddala mu bibuga, okuwaliriza abantu okubyamuka, olwo Putin abiseeteeze nga tewali amuvunaana nti yasse abantu ba bulijjo.
Ng’oggyeeko okwonoona entindo, abantu mukaaga be baafiiridde mu bulumbaganyi buno, Zelensky n’asaba abazungu okumwongera ebyokulwanyisa asobole okukuba Putin ebifo ebinaamuluma.
PUTIN WAAKUSABUUKULULA
BBOMU YA NUKIRIYA
Putin yalabudde amawanga g’Abazungu nti mwetegefu okusabuukulula bbomu za nukiriya okukuba amawanga gaabwe, singa kabatanda ne bagezaako okuwamba ekizinga ky’e Kaliningrad, eky’enkizo ennyo eri Putin.
Yasinzidde mu lukung'aana lwa Valdai Discussion Club mu kibuga Moscow, n’agamba nti abiwulira nti amawanga ga NATO galina enteekateeka esalako ekizinga kya Kaliningrad, okusobola okukola obulungi ennumba ku Russia.
Ekitundu kino ekya Kaliningrad kya Russia, tekiyungiddwa ku Russia na ttaka, era okukituukako ng’ova Russia, olina kukozesa nnyonyi oba entambula ey’oku mazzi. Kyokka era kirina ensalo n’amawanga ga NATO okuli Poland ne Lithuania, era nga kigambibwa nti aba NATO baagala kuyita mu mawanga gano bawambe ekitundu kino. Ekizinga kino kya nkizo nnyo eri Russia mu by’okulwana, kubanga Putin w'asobola okusimba emmundu ze n’akuba bulungi ebibuga by’amawanga g’Abazungu ebisinga obungi. Ate amazzi ageetoolodde ekitundu kino tegakwata muzira ne bwe biba biseera eby’obunnyogovu, ekitegeeza nti basobola okukozesaawo ekiseera kyonna mu mwaka

Tags: