Amawulire

Abasengula ebiggya babayodde

POLIISI ekutte abantu 19, abaapangisiddwa okuziikula amalaalo ku ttaka erikaayanirwa aba ffamire e Mutundwe, mu Kigagga zzooni.

Abaakwatiddwa nga basimula amalaalo
By: YUDAYA NAMYALO NE LAWRENCE KIZITO, Journalist @New Vision

POLIISI ekutte abantu 19, abaapangisiddwa okuziikula amalaalo ku ttaka erikaayanirwa aba ffamire e Mutundwe, mu Kigagga zzooni.

Abasajja bano baabasanze baakabotola entaana nga munaana, mu kiro ekyakeesezza ku Lwokuna, baategeezezza poliisi nti, baapangisiddwa okuva mu disitulikiti y’e Mityana, basengule ebiggya bino era tebaategedde nti, ettaka likaayanirwa.


Aba ffamire be twayogeddeko nabo, ettaka lino lyagulwa Mangadalena Nakato mu 1945, kyokka bwe yafa teyaleka mwana ku nsi, ettaka n’alirekera aba ffamire baziikengawo.


Owa ffamire eyategeerekeseeko erya Kiberu, yagambye nti, okuva Nakato lwe yafa mu 1965, bazze baziika ku ttaka lino nga kati kuliko abafu abasoba mu 250.


Yagambye nti, obuzibu bw’ava ku bazzukulu abaagala eby’amangu, abaatunda ettaka lino mu bukyamu nga tebalina bbaluwa zibakkiriza kuddukanya bya bugagga bya mugenzi.


Abazzukulu bano, Kiberu yagambye nti, kuliko aba muganda we, era bazze battunka nga balwanirira ettaka lino, naye amaanyi g’abagagga abagambibwa okugula galabika nga mangi.

Alex Mubiru nga naye wa ffamire, yagambye nti, abagagga abagamba nti baagula,
baamenya obuyumba bwe yalina ku ttaka lino, naye buli gye beekubira enduulu tebafuna bwenkanya.

 

RCC w’e Lubaga, Moses Ariho yannyonnyodde nti, aba ffamire eno bazze battunka, era ensonga zaabwe yazituulamu, naye babadde tebannaba kukkaanya, ate abamu ne baagala okusengula abafu mu ngeri emenya amateeka.

 

Yagambye nti, waliwo ab’oluganda abaagenda mu kkooti ne bafuna ekiragiro ekibakkiriza okusengula amalaalo kyokka ekiragiro kyogera abafu 15 bokka ng’ate ku kiggya kiriko abafu abasoba mu 200 bwe butateeka kiragiro kino mu nkola.


ssentebe w’ekyalo kino, Paul Walakira yagambye nti, baamukubidde essimu ne bamugamba nti, waliwo abavubuka abakambwe abatandise okusimula amalaalo
kwe kubayimiriza mu bwangu.


Abaakwatiddwa bwe baababuuzizza lwaki omulimu baabadde bagukola
kiro mu nzikiza ng’abantu beebase, baagambye nti, emisana emizimu gy’abafu giba gigenze kukola nga kiba kizibu okutwala omufu ng’omuzimu gwe teguliiko.


Nti kyokka ekiro emizimu giba gikomyewo, era bagisengulira wamu n’abagenzi, ne girema kusigala nga gitawaanya aba ffamire.

Tags:
POLIISI
Kigagga zzooni.
RCC w’e Lubaga