Kino kyaddiridde minisita Justine Lumumba okugenda e Kyotera ne bamuloopera vvulugu akolebwa akakiiko kano.

Nalubowa akulira akakiiko kano.

Bakkansala nga bateeka emikono ku kiwandiiko.
Ensonga eno bajanjadde mu maaso g’akakiiko ka kkanso ebadde ekubirizibwa Sipiika Francis Lubinga. Mu kiseera kino bakkansala babaze ekiwandiiko okugoba Nalubowa ne banne era bataandise okukissaako emikono egikisemba! Wabula, Nalubowa ye yategeezezza nti bano tebalina buyinza kumugoba.