🇺🇬 Tukwagaliza Olunaku olw'Ameefuga ag'e 64 olulungi 🇺🇬
  *   🇺🇬✨ Okujaguza eddembe lyaffe, obusika bwaffe, obumu, okwesiimisa n'omwoyo gwa Uganda. Tiimu ya Bukedde ekwagaliza Olunaku olw'ameefuga olw'omulundi ogwa 64!🎉🇺🇬   *  
Amawulire

Kaddu eyattiddwa obubbi yabutandika akyasoma

JOHN Kaddu eyattiddwa abadde atigomya abantu mu Nakawa ng’ababba n’okubakolako effujjo nga ne bwe muba mumanyiganye akwefuulira n’akubba.

Omugenzi John Kaddu (ku ddyo) ne Pius Okoth lwe basimbibwa mu kkooti e Nakawa ku misango gyokubbisa eryanyi mu 2019.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

JOHN Kaddu eyattiddwa abadde atigomya abantu mu Nakawa ng’ababba n’okubakolako effujjo nga ne bwe muba mumanyiganye akwefuulira n’akubba.
Kaddu nga kitaawe abadde yamukazaako lya Mpologoma ye, abadde aduumira obubinja bw’abamenyi b’amateeka obw’enjawulo era nga singa omugwa mu buufu nga tayinza kukuleka kyekimu kubanga abamumanyi babadde bamutenda nga bw’atalemererwa.

Omumyuka wa ssentebe w’omuluka gwa Mutungo, Robert Mutesaasira yategeezezza nga Kaddu bw’abadde aludde ng’awulikika mu kutigomya abantu era azze akwatibwa enfunda eziwera n’aggalirwa kyokka n’ayimbulwa olw’abatuuze okutya okumuwaako obujulizi mu kkooti.
Mutesaasira agamba nti, entabwe yava ku kitaawe okumuwaga ng’amuyita ‘’Empologoma yange’’ nga kino kye kimu ku byamwongera obuvumu mu kwenyigira mu bumenyi bw’amateeka .
Abatuuze abamu baatyanga okulumba Kateregga okumugamba akome ku mutabani we kubanga nga ne bwe bamugamba asigala amuwakanira n’okumuwaana.
Mu mboozi ez’enjawulo Bukedde z’ezze ekola ku Kaddu ng’abantu bamwemulugunyaako
Fred Mugisha eyali avunaanyizibwa ku by’amawulire mu zooni 10 e Kitintale omusangibwa amaka ga Laadi Kateregga nga ye taata wa Kaddu yagambye nti, omugenzi abadde mumenyi w’amateeka wa lulango mu kitundu kino era bo ng’abakulembeze baatandika okuyingira mu nsonga ze mu 2009 nga bayizi banne bamwemulugunyaako nti yali ababba .
Oluvannyuma yatandika okutendeka abaana abato obubbi nga baatandika okubba ebintu ng’amasimu, laptop n’okumenya kkufulu z’ennyumba.
Shafi Pruhan ng’ono yali atwala eby’okwerinda mu zooni 10 e Kitintale yagambye nti Kaddu yali mulenzi muto nga n’olumu baamubonerezaako nga bamuvunaana obutasoma wamu n’obubbi kubanga yasabanga maama we ssente naye nga lw’atamuwadde ng’azibba bubbi.
Ekiseera kyatuuka Kaddu n’ava mu ssomero n’atandika okukola ebikolobero ng’olumu alina omuntu gwe yakuba n’amuyisa bubi era n’atwalibwa mu ddwaaliro gye yafiira oluvannyuma.
“Olumu nnali nva ku mupiira ku ssaawa nga 6:00 ekiro mu 2014 ne nsanga Kaddu ne bankuba ne bampisiza ddala bubi nnyo , bwe nalumba kitaawe ne muloopa yamuwakanira.
Mu December, 2019 Kaddu ne banne 8 baasimbibwa mu kkooti y’omulamuzi Fiona Angura e Nakawa ne baggulwako omusango gw’okubbisa eryanyi era ne basindikibwa mu kkomera e Luzira. Bwe yayimbulwa, ku kakalu ka kkooti, kitaawe n’amupangira n’agenda e Dubai mu 2021 wabula obulamu bwamulemerera n’akomawo kuno, n’atandikira we yakoma mu kubba.
Amyuka atwala ebyokwerinda mu Muluka gwe Mutungo, Isa Tabalo yategeezezza nti, Kaddu abadde mubbi ate omujoozi ng’aweereza abantu obubaka ku masimu n’olumu okubakubira ng’abalabula okumuvaako nti nabo ajja kubakolako. Era lumu bamukwata ne bamusibira ku poliisi ye Kitintale bwe baamubuuza kiki ekimubbisa n’abagamba nti ye baamuloga bulozi okubba.
Kaddu yattiddwa abatuuze e Mutungo mu zooni III nga bamuteebereza okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka. Bino byabaddewo ku kiro ekyakeesezza Olwokubiri lwa wiiki ewedde ku ssaawa nga 6:00 ez’ekiro, nga aliko owa bodaboda ayitibwa Ntege abadde atera okumuvuga gwe yasanze mu kitundu by’e Kitintale n’amuyimiriza. Ntege yasoose kulowooza nti Kaddula ayagala kumutwalako wabula yagenze okulaba ng’akangula eddoboozi ng’amusaba ssente zonna z’akoze mu wiiki. Bwe yamugambye nti talinaawo ssente, Kaddu kw ekumuggunda agakonde n’ava ku pikipiki n’agwa eri.
Banne ba Kaddu abalala bazze ne bakulula pikipiki, Ntege kwe kukuba enduulu eyasombodde abatuuze abaabasimbyeko ne babatomera ne bava ku pikipiki ne bagwa wansi. Omu yadduse olwo ne banyweza Kaddu ne munne ne babakuba okukkakkana nga Kaddu bamusse

Tags: