🇺🇬 Tukwagaliza Olunaku olw'Ameefuga ag'e 64 olulungi 🇺🇬
  *   🇺🇬✨ Okujaguza eddembe lyaffe, obusika bwaffe, obumu, okwesiimisa n'omwoyo gwa Uganda. Tiimu ya Bukedde ekwagaliza Olunaku olw'ameefuga olw'omulundi ogwa 64!🎉🇺🇬   *  
Amawulire

Abaalya ssente za SACCO ya bamakanika bakwatiddwa

ABANTU bana abateeberezebwa okulya ssente za SACCO ya bamakanika e Nansana bakwatiddwa ne baggalirwa.

Abaakwatiddwa nga babatadde ku kabangali ya poliisi.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABANTU bana abateeberezebwa okulya ssente za SACCO ya bamakanika e Nansana bakwatiddwa ne baggalirwa.
Kino kiddiride ebikwekweto ebyattukiziddwa avunaanyizibwa ku kulondoola emirimu gya Gavumenti mu maka g'Obwapulezidenti, Yiga Kisakyamukama ku bagambibwa okubulankanya ssente obukadde 300, Pulezidenti Museveni ze yawa SACCO ya bamakanika n'aba ggalagi e Nansana mu 2025.

Abaakwattidwa be baali batuula ku lukiiko olw'abantu 16 abaakwasibwa obuvunaanyizibwa okuddukanya SACCO eno nga kigambibwa nti mu kifo kya ssente zino okuziwolanga bamakanika, ezisinga baazeegabanya olwo bannyinizo ne babawaako busammambiro.
Ssente zino zaagenda okuteekebwako envumbo nga ku akawunti kusigaddeko obukadde 40 bwokka!
Kisakyamukama yalagidde eyali akulira SACCO eno, Kaasa Kassimu ne munne eyategeerekeseeko erya Ddamba abaakwatibwa gye buvuddeko ne babata, baddemu bakwatibwe baseseme ssente zino.
Omubaka wa Pulezidenti, mu munisipaali y'e Nansana, Charles Lwanga yategeezezza nti, eyali omuwanika wa SACCO yetta oluvannyuma lw'okutya okukwatibwa ku byekuusa ku kubulankanya ssente zino. Yalagidde bammemba ba SACCO eno baddemu okuwandiisibwa, balonde obukulembeze obupya era n'assaawo akakwakkulizo yenna awolebwa asooke kwekubya bifaananyi biteekebwe ku ffayiro ye era RDC ne DISO balina okubateerako emikono nga tebannaweebwa ssente

Tags: