🇺🇬 Tukwagaliza Olunaku olw'Ameefuga ag'e 64 olulungi 🇺🇬
  *   🇺🇬✨ Okujaguza eddembe lyaffe, obusika bwaffe, obumu, okwesiimisa n'omwoyo gwa Uganda. Tiimu ya Bukedde ekwagaliza Olunaku olw'ameefuga olw'omulundi ogwa 64!🎉🇺🇬   *  
Amawulire

Minisita Mayanja akubye ebituli mu ndagaano eyakolebwa ku bya nnamba puleeti eza digito

SSAABAWOLEREZA wa Gavumenti, Sam Mayanja ategeezezza akakiiko ka Palamenti nti, endagaano eyakolebwa wakati wa Gavumenti ne kkampuni eyaweebwa ttenda okukola nnamba puleeti za digito tegobererwanga n’ebimu ku bigirimu bikontana n’amateeka g’eggwanga.

Ssaabawolereza wa Gavumenti Sam Mayanja, Fadhic Mawanda n'abakungu b'akola nabo nga bali mu kakiiko.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

SSAABAWOLEREZA wa Gavumenti, Sam Mayanja ategeezezza akakiiko ka Palamenti nti, endagaano eyakolebwa wakati wa Gavumenti ne kkampuni eyaweebwa ttenda okukola nnamba puleeti za digito tegobererwanga n’ebimu ku bigirimu bikontana n’amateeka g’eggwanga.
Mayanja yasinzidde mu kakiiko kano akalondoola ebyentambula n’enzimba. Yasoose kutegeeza nti kontulakiti yakolebwa mu July, 2021 era nga yali ewa Joint Stock Company Global olukusa ng’esinziira mu ggwanga okutandika okufulumya digito nnamba puleeti mu kaweefube w’okunyweza ebyokwerinda.

Enteekateeka eno yaakumala emyaka 10 era 2027 w’anaatuukira buli alina ekidduka ateekeddwa okuba n’ennamba puleeti eya digito. Wabula ssinga bamaliriza omulimu ng'emyaka teginnaggwaako, byonna ebibadde bikozesebwa bidda mu mikono gya Gavumenti.
Okusinziira ku ndagaano, kkampuni eteekeddwa okutendeka ekitongole ky’amagye okukola obuuma obulondoola ekidduka nga kibbiddwa n’okubuteekamu wabula giweze emyaka 5 nga tekikolebwa. Gavumenti okutuuka okukkaanya ne kkampuni nti ssente 714,300/- ze ziba ziggyibwa ku buli kidduka ekifuna digito nnamba puleeti omulundi ogusooka, awatali kusooka kunoonyereza ku nsi ndala, Mayanja yagambye kimenya mateeka
Yeewuunyizza n’akakwakkulizo akaateekebwa mu ndagaano ku ngeri kkampuni eno bw’erina okwesasula okulaba nga mu myaka ekkumi ssente zaayo obuwumbi obusoba mu 3,000 zivaayo. Ssente zino zaatunuulirwa okuva mu misango eginazzibwa abavuzi b’ebidduka era nga buli omu omwaka waakuzza emisango emirundi 4.
Kino Mayanja yagambye tekijja kusoboka n'awa ekyokulabirako nti yaakavugira emmotoka emyaka egisoba mu 40 naye tazzanga ku musango ku luguudo.
Yagenze mu maaso n'alambulula nti ensonga kw'asinziira okugamba nti ye talabawo ndagaano, kwe kuba ng'emyaka gitambudde naye obukwakkulizo bwonna okuli n'okuba nga kkampuni erina okubalirirwa buli luvannyuma lwa myezi esatu, tebuteekeddwa mu nkola.
Bwe yabuuziddwa oba kisoboka kontulakiti ya Joint Stock Company Global okusazibwamu, yagambye nti okusinziira ku ndagaano eyakolebwa babeera balina okuliyirirwa.
Kyokka ssentebe w’akakiiko Mwine Mpaka (Mbarara City South) yategeezezza nti eyo ndowooza ya Ssaabawolereza wa Gavumenti kyokka bo ng’akakiiko, bakyagenda mu maaso n’okukola okunoonyereza okuva mu bitongole n’abantu ab’enjawulo

Tags: