GAVUMENTI ya Uganda yeebaziddwa olw'okutandika enkola ya Bulungibwansi buli Lwamukaaga olusemba mu mwezi okwetoloola eggwanga lyonna.
Okusiimwa kuno kwakoleddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu bubaka bweyawerezza eri Obuganda nga bwasomeddwa mu masinzizo gonna okwetoloola Obwakabaka ku wiikendi mu kwetegekera okujaguza olunaku lwa Bulungibwansi ne gavumenti ez'ebitundu olubeerawo buli lwa 08 mu mwezi gw'ekkumi era okujjukirirwa okukomekkerezebwa kw'obufuzi bw'amatwale ku Buganda.

Minisita Sserwanga ( ku kkono) ng'abuuza ku Fr. Stellios Kasule
Ku Lutikko e Namirembe obubaka bwasomeddwa Omukubiriza w'olukiiko lwa Buganda olukulu, Patrick Mugumbule, mu kusaba e Lubaga bwasomeddwa Ssebwana Charles Kiberu Kisiriza ng'ono ye Mwami w'essaza lye Busiro, ate ku Lutikko y'Omutukuvu Nicholas e Namungoona mu Basodokisi obubaka bwa Katikkiro buno bwasomeddwa Minisita w'abavubuka,emizannyo n'ebitone, Robert Sserwanga.
Mayiga yagambye nti enkola eno ng'Obwakabaka buggyaniriza kubanga obuyonjo bwegombebwa, era bugoba endwadde ezisinga obungi bwatyo neyeebaza gavumenti olw'okulaba obukulu bwaayo kuba mu Buganda yatandika eyo mu mwaka gwa 1402 ku mulembe gwa Ssekabaka Ttembo.
Ebijjaguzo by'olunaku lwa Bulungibwansi omwaka guno bitambulidde wansi w'omulamwa ogugamba nti "
Tukolere wamu okusitula omutindo gw'enkola ya Bulungibwansi n'obukulembeze bw'ebitundu ku lwa Buganda ey'enkya'.

Minisita w'abavubuka mu Buganda, Robert Seerwanga ( wakati) n'abakulu abalala nga bakutte emisubbawa mu kusabira Obwakabaka nga bujjaguza olunaku lwa Bulungibwansi wiiki eno.
Mayiga agamba nti Bulungibwansi alina kutandikira mu maka olwo oluvanyuma neyeyolekera mu bitundu abantu mwebabeera.
"Bulungibwansi yeyoleka atya mu maka?Gano ge maka amateeketeeke, amayonjo, nga n'abagalimu balamu, era agalimu emmere egamala, era nga galina ebikolebwa ebivaamu ensimbi ezigayimirizaawo. Abantu ab'omu maka ago baba n'empisa; amaka ago gategeera obuwangwa; era ng'abazadde balabirira, bagunjula n'okuweerera abaana," obubaka bwa Mayiga bwe bwasomye.
Yayongeddeko nti amaka bwegati gabaamu empuliziganya ennungi era getangira ebiyinza okuvaako obutabanguko mu go.
Ku lulwe, Minisita Sserwanga yasabye abazadde n'abakulembeze okuyigiriza enkola eno eri abaana bave buto nga bamanyi ebikwata ku Buganda ebazaala.
Fr. Stellios Kasule nga ye Mumyuka wa Ddiini wa Lutikko y'Omutukuvu Nicholas e Namungoona yeebazizza Kabaka ne gavumenti ye olw'okubeera eddoboozi lyaabo abatalina bwogerero mu Uganda eyawamu ate n'okuteekawo enkulakulana eyaabwe okuzzaawo ekitiibwa kya Buganda.
Ye Minisita w'enkulakulana y'abantu ba Buganda, Coltilda Nakate Kikomeko yasinzira Bulindo ku Lwomukaaga ng'aggulawo Love For Health Medical Centre n'asaba amalwaliro okuteeka mu nkola ekiragiro kya Kabaka gyebali okuwa eby'obulamu ebisoboka ate nga buli ku mutindo kubanga ayagala abantu be nga balamu buli kadde.
Dr. Kateregga Muteesa akulira emirimu mu kifo kino yalaze obwetegefu bwabwe okutambulira awamu n'Obwakabaka nga bagenda kutandikira ku nkola ya Yinsuwa eya Tubeere Balamu okulaba nga yeyambisibwa abalwadde baabwe.

Wano nga bali mu kifananyi ekyawamu
Hajj Amisi Kakomo, Minisita w'ebyobulimi yeyakikkirira Obwakabaka ku muzikiti e Kibuli mu kusinza okwetabwamu ne Supreme Mufti Sheikh Mohammad Galabuzi ng'ono yasaba abantu okuddamu okutumbula obuyonjo mu maka nga batandikira ku kubeera ne kabuyonjo, obutandaalo n'ebirala ebyakuumanga obuyonjo mu maka, biddewo.
Ate ku kanisa e Najjanankumbi, Minisita w'amawulire Israel Kazibwe yeyakirira Obwakabaka mu kusaba kw'Abadiventi. Ku lwomukaaga luno waliyo n'okutambula okwakolebwa Bannalotale be Kasubi nga nakwo kuli mu buufu bw'okubunyisa enjiri ya Bulungibwansi.
Emikolo emikulu egy'okujjaguza kuno gigenda kukwatibwa ku mbuga y'eggombolola Ssabawaali Gombe ekisangibwa mu munisipaali ye Nansana mu ssaza ly'e Kyadondo eryawangula empaka z'enzirukkanya y'emirimu mu massaza g'Obwakabaka bwonna.