AMYUKA sipiika, Thomas Tayebwa asabye minisita w'ebyensimbi n'owamasannyalaze baleete lipooti enkya ku ddoola okulinnya ne bbeeyi y’amafuta okwekanama.
Bw’abadde ayogera ku nsonga eziruma eggwanga, Ssennyonyi ategeezezza nti ebbeeyi y’amafuta eri wakati wa siringi kakaaga mu lunaana, n'akasanvu buli liita, n’ategeeza nti Gavumenti yasuubizza nti bbeeyi y’amafuta ejja kukka, ssinga banaagula amafuta amangi nga bayita mu kibiina kya UNOC.
Yasabye Gavumenti ebeeko ky’ekola ku bbeeyi y'amafuta, n’ategeeza nti okulinnya kw’amafuta kwongedde okulinnyisa ebbeeyi y’ebintu ebirala ebyetaagisa mu bulamu obwa bulijjo.
Wano amyuka sipiika, Thomas Tayebwa we yasinzidde n’alagira minisita w'ebyensimbi Henry Musaasizi n'owamasannyalaze n'obugagga obw'ensibo Monica Musenero baleete lipooti olwaleero.