Amawulire

Omumyuka wa sipiika alagidde Gavumenti ku bbeeyi y'amafuta eyeekanamye!

AMYUKA sipiika, Thomas Tayebwa asabye minisita w'ebyensimbi n'owamasannyalaze baleete lipooti enkya ku ddoola okulinnya ne bbeeyi y’amafuta okwekanama.

Omumyuka wa sipiika alagidde Gavumenti ku bbeeyi y'amafuta eyeekanamye!
By: Aminah Shakirah Nalugo, Journalist @New Vision

AMYUKA sipiika, Thomas Tayebwa asabye minisita w'ebyensimbi n'owamasannyalaze baleete lipooti enkya ku ddoola okulinnya ne bbeeyi y’amafuta okwekanama.

‎

‎Kiddiridde akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti, Joel Ssenyonyi okwemulugunya ku ddoola ne siringi ya Uganda enaabuuse ssaako n'ebbeeyi y'amafuta okulinnya.

‎

‎Bw’abadde ayogera ku nsonga eziruma eggwanga, Ssennyonyi ategeezezza nti ebbeeyi y’amafuta eri wakati wa siringi kakaaga mu lunaana, n'akasanvu  buli liita, n’ategeeza nti Gavumenti yasuubizza nti bbeeyi y’amafuta ejja kukka, ssinga banaagula amafuta amangi nga bayita mu kibiina kya UNOC.

‎

‎Yasabye Gavumenti ebeeko ky’ekola ku bbeeyi y'amafuta, n’ategeeza nti okulinnya kw’amafuta kwongedde okulinnyisa ebbeeyi y’ebintu ebirala ebyetaagisa mu bulamu obwa bulijjo.

‎

‎Wano amyuka sipiika, Thomas Tayebwa we yasinzidde n’alagira minisita w'ebyensimbi Henry Musaasizi n'owamasannyalaze n'obugagga obw'ensibo Monica Musenero baleete lipooti olwaleero.

Tags:
Amawulire
Mafuta
Bbeeyi
Kwekanama
Kulagira
Gavumenti
Sipiika