Amawulire

Ettemu ly’e Masaka lyewanisizza abatuuze emitima

ABANTU mu bitundu by’e Masaka eby’enjawulo emitima gibeewanise, olw’ettemu erisusse oluvannyuma lw’abantu bastu okuttibwa mu bbanga lya wiiki emu nga bonna baasaliddwaako emitwe.

Abantu ab'enjawulo kye boogera
By: Bya LAWRENCE KIZITO NE BONNY KIZZA, Journalist @New Vision

ABANTU mu bitundu by’e Masaka eby’enjawulo emitima gibeewanise, olw’ettemu erisusse oluvannyuma lw’abantu bastu okuttibwa mu bbanga lya wiiki emu nga bonna baasaliddwaako emitwe.


Ettemu eryasoose lyabadde Mityebiri e Kyotera abantu bwe baagudde ku mulambo gw’omusajja nga yasaliddwaako omutwe abatemu ne bakuuliita nagwo, ne bamwambula n’engoye.


Ekiwuduwudu kino kyasangiddwa okuliraana amaka ga minisita omubeezi ow’ensonga

ez’ebweru era omubaka w’e Kyotera, Kyeyune Haruna Kasolo. Poliisi y’e Kyotera yagyeewo omulambo, ng’okunoonyereza

 

bwe kugenda mu maaso.Ate ku Lwokubiri lwa wiiki y’emu, abatuuze ku kyalo
Samaliya mu divizoni ya Nyendo Mukungwe mu Masaka City, baagudde ku mutwe gw’omuntu nga gusuuliddwa okuliraana Poliisi y’e Kako.


Abatuuze abaalabye ku mutwe guno baagambye nti
 gwabadde gwa muwala alabika nga muvubuka mu myaka, nga guliko n’enviiri ensibe! Abatuuze baasoose kwekanga nsawo eyabadde erekeddwa ebbali w’ekkubo, bwe baagisumuludde baggudde ku mutwe gwa muntu, ne babuna emiwabo, era ne bayita
Poliisi eyazze n’egugyawo.


Ku Lwokusatu, abatuuze ku kyalo Butale, mu muluka gw’e Mazinga mu ggombolola
y’e Buwunga, baagudde ku kiwuduwudu ky’omukazi, nga bakisudde mu lusozi lw’e Mazinga.

 

Ssentebe w’e Butale, Haruna Tamale yagambye nti omukazi ono baamusazeeko omutwe, ebbeere, emikono, ate ne bamutunga n’ebiti mu mbugo! Tamale yasabye Poliisi eyambe
effeffette abatemu bano, kubanga batadde abatuuze ku bunkenke, nga buli omu tamanyi lwe kinaamutuukako.


Omwogezi wa Poliisi mu bitundu by’e Masaka, Twaha Kasirye yagambye nti omutwe
ogwasangiddwa e Kako n’ekiwuduwudu ekyasangiddwa e Mazinga, baabigyeko sampolo
ne ziweerezebwa e Kampala, zeekebejjebwe, okusobola okuzuula oba bya muntu omu oba
bantu ba njawulo.


Yayongeddeko nti tebannaba kukwatayo muntu yenna ku ttemu lino, naye ng’okunoonyereza kuli mu ggiya ya maanyi. Yasabye abantu abalina amawulire ku bubinja bw’abantu abatali batuufu bategeeze ku Poliisi, esobole okubagya mu bantu.
Kinajjukirwa nti mu wiiki nga bbiri emabega, abatuuze b’e Beteleemu mu ggombolola y’e Nabigasa mu Kyotera, baagwamu ekikangabwa, abatemu bwe batta mutuuze munaabwe


Alex Lubowa, eyali omusuubuzi w’ettaka. Lubowa baamuttira
mu kibira gye yali agenze okwesanyusaamu n’omwagalwa we, era
omuwala gwe yali naye Poliisi yamukwata. Ate era nga August 10,2026, omulambo gw’eyali omuyizi wa Masaka SS, Rayati Nassali Nakato, gwasangibwa gusuuliddwa

 

ku luguudo oluva mu Nyendo okudda e Kako, nga kigambibwa nti yattibwa abavubuka abaali bamukaayanira, nga bonna baali baamuganza.

Tags:
Masaka
Ettemu
Kyeyune Haruna Kasolo