Amawulire

Kaliisoliiso wa Gavt. waakusisinkana minisita Balaam ku nkola y’emirimu

KALIISOLIISO wa Gavumenti, Aisha Naluzze Batala awakanyizza enkola y’emirimu eya minisita wa gavumenti ez’ebitundu Balaam Barugahara n’asuubiza okumuyambaokukolera emirimu mu mateeka.

IGG Naluzze (ku kkono) ng’akwasa Sipiika Jacob Oboth lipooti. Ku ddyo ye, Ssenyonyi.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KALIISOLIISO wa Gavumenti, Aisha Naluzze Batala awakanyizza enkola y’emirimu eya minisita wa gavumenti ez’ebitundu Balaam Barugahara n’asuubiza okumuyamba
okukolera emirimu mu mateeka.

Yabadde ayanjula lipooti eraga nga ofiisi ye bw’ekoze okuva mu January okutuusa June 2026, eri sipiika wa Palamenti, Jacob Oboth, akulira oludda oluvuganya mu Palamenti Joel Ssenyonyi, ne bassentebe b’obukiiko bwa Palamenti.
Mu bbanga eryo, yategeezezza sipiika nti, baasobola okukola okunoonyereza ku misango 1,909 nga 1,472 gyamalirizibwa okukolebwako. Emisango 614 gyali gya buli bwa nguzi, 177, gyekuusa ku kumenya nneeyisa ya bukulembeze ate 618 egyekuusa ku bantu ba bulijjo abaalina okwemulugunya ku bakama baabwe ku mirimu.
Emisango gino gyali gitunuuliddwa okuvaamu obuwumbi 41 n’obukadde 600 wabula ng’obuwumbi 5 n’obukadde 700 bwe bwakanunulwa. Olwamalirizza okutegeeza ebyo, Ssenyonyi yasoose kumutegeeza okusinziira mu kawaayiro 13 mu Ssemateeka w’eggwanga, ofiisi ya kaliisoliiso wa gavumenti y’evunaanyizibwa okulwanyisa
obuli bw’enguzi.
Ng’ayagala okumanya bwe bakwatagana n’ebitongole ebirala bwe bakola omulimu ogufaanagana nga ekya State House Anti-corruption Unit, State House Investors’ Protection Unit, n’ebirala oluvannyuma lw’okwemulugunya nti, wadde nabyo weebiri enguzi ekyayinda.
Yabuuzizza Naluzze ku nkola ya Balaam ey’emirimu wakati mu kutuukiriza
obuvunaanyizibwa bwe n’okulondoola oba nga bonna abakwatibwa mu bikwekweto
batwalibwa mu mbuga z’amateeka ne bavunaanibwa. Mu kwanukula IGG yasoose kusiima mirimu gya Balaam kyokka n’ategeeza nti, ng’omu ku abo abavunaanyizibwa okutumbula enkola ey’amateeka waliwo bye batakkaanya nabyo.
Ababaka era baamukunyizza ku ky’obutasasula bantu ababawa amawulire mu kyama ku abo ababeera beenyigidde mu kulya enguzi

Tags: