Amawulire

Nnamutikwa w’enkuba asaanyizzaawo amayumba n’emmere y’abantu e Isingiro

Abatuuze mu tawuni kanso y’e Kyabishaho mu ggombolola y’e Ngarama e Bukanga mu disitulikiti y’e Isingiro bali mu kweraliikirira oluvannyuma lw’enkuba eyasiibye efudemba olunaku lw’egulo ku Mmande obutabalekera bintu ng’ebisinga byayonooneddwa.

Nnamutikwa w’enkuba asaanyizzaawo amayumba n’emmere y’abantu e Isingiro
By: Fatumah Nalubega, Journalist @New Vision

Abatuuze mu tawuni kanso y’e Kyabishaho mu ggombolola y’e Ngarama e Bukanga mu disitulikiti y’e Isingiro bali mu kweraliikirira oluvannyuma lw’enkuba eyasiibye efudemba olunaku lw’egulo ku Mmande obutabalekera bintu ng’ebisinga byayonooneddwa.

 

Mu byayonooneddwa kuliko ensuku z’amatooke, amakubo, n’amayumba nga kino kyabalese tebalina waakwewogoma.

 

Abatuuze okuli James Kitabayi ne Enos Natukunda, baagambye nti embeera ebadde yaakusoomozebwa olw’omusana omungi ogubadde gwaka era nga basabirira enkuba okutonnya, kyokka bano baategeezezza nti yadde babadde bagyensunga ky’ebatuusizzaako kiralamu nga mu kifo ky’okubayamba ate kati ebalese mu bbanga.

 

Bano bategeezezza nti yatandise mpola naye ate ne yeeyongera nga nnyingi ng’erimu n’embuyaga nga gye byakakkanidde kwabadde kusitulako busolya bwa mayumba gaabwe, okukulukusa ebirime byabwe mu misiri ssaako n’okwonoona ensuku zaabwe ez’amatooke.

 

Abakyala okuli Natukunda Loyce, Ketabaro Miria ne Obed Mugabe alina obulemu ku mubiri gwe nabo abasigadde mu bbanga olw’amayumba gaabwe okuvaako obusolya era bano bagambye nti ensuku zino ze zibadde zibayimirizawo mu kuweerera abaana baabwe ebisale by’essomero n’okufunirako looni okubayamba naye kati nti basobeddwa nga tebalina kyakuzzaako.

 

Bano beekubidde omulanga eri abakulembeze baabwe n’abazirakisa okubadduukirira basobole okufuna nga bwe batambuza obulamu.

 

Benon Kyampa Matsiko ssentebe LCIII w’e Ngarama agambye nti ebyalo ebyakoseddwa kuliko Karerema ne Biharwe ebisangibwa mu ggombolola y’e Ngarama wamu ne Kigando, Kakinga, Kyabishaho ne Nyakitunda.

 

Asabye abantu okubeera bulindaala lwa nsonga nti enkuba kati etonnya ejja bubi nga balina kwebeereramu.

Tags:
Nkuba
Nnamutikkwa
Kusaanyaawo
Bantu