MU 2021, Kenya yawera kasooli wa Uganda olw’obutwa obuva mu bukuku obuyitibwa ‘Aflatoxins’ obw’agambibwa nti, bwali bungi mu kasooli wa Uganda.
Kino kyafiiriza abalimi ne Uganda ng’eggwanga obutitimbe bwa ssente olw’okubulwa akatale k’amakungula gaabwe ekyaleka abakugu nga bakulunga emitwe okulaba engeri gye basobola okugonjoola ekizibu kino.
Dr. George Mahuku, atwala ekitongole kya The International Institute of Tropical Agriculture (IITA) mu Uganda ekikolera wansi w’ekitongole ekikola ku kunoonyereza ku by’obulimi ekya International Agricultural Research Center (CGIAR) e Ibadan-Nigeria.
Okusinziira ku Dr. Mahuku, singa kasooli ayingiramu fangaasi ezifulumya obutwa buno ng’akyali mu nnimiro, ne bw’ogezaako okumukuuma ng’akunguddwa agenda kusigalamu obutwa buno n’olwekyo buteekeddwa kukwataganyizibwa ku mitendera gyonna; Okuva mu nnimiro okutuuka ku ssowaani okuyita mu nkola entuufu.
Agamba nti, okuyamba abalimi okulwanyisa obutwa bw’obukuku buno, baliko ekirungo kye batuumye ‘Aflasafe’ nga kino kikolebwamu buwuka obuyamba okukendeeza obutwa buno mu ngeri ya butonde okumalirawo ddala okusoomoozebwa gw’obutwa buno obufiirriza abalimi n’abasuubuzi.
“Ekitongole kua IITA kifulumizza ekirungo kino mu ngeri esobola okukozesebwa abalimi okukendeeza obutwala bwa Aflatoxin okutuukira ddala ku bitundu 99 ku 100,” Dr. Mahuku bw’agamba.
AFLASAFE
Dr. Mahuku annyonnyola nti, Aflasafe akolebwa mu butonde okukendeeza obungi bw’obutwa obuyingira mu mmere ekungulwa nga buno buleetebwa buwuka ekika kya fangaasi obubeera mu ttaka.
“Okuva mu kunoonyereza kwaffe ng’ekitongole, obutwa bw’obukuku oba ‘Aflatoxins’ butandikira mu nnimiro okwawukana n’endowooza eriwo nti, butandikira ku nkwata y’amakungula. Kino n’olwekyo kitegeeza nti, okulwanyisa obutwa buno, kirina kutandika ng’ekirime kikyali mu nnimiro,” Dr. Mahuku bw’agambaAnnyonnyola nti, mu nnimiro eriyo ebika by’obuwuka obuvaako obutwa buno nga buli mu ttuluba lya fangaasi eziyitibwa Aspergillus flavus kyokka nga waliwo obutafulumya.
“N’olwekyo Aflasafe, kirungo kya butonde okuyita mu Fangaasi ekikozesebwa okulwanyisa obutwa bw’obukuku okuyita mu buwuka obutafulumya butwa. Fangaasi ezifulumya obutwa bwe ziremesebwa, kitegeeza ebirime tebigenda kufuna butwa ne mu makungula,” Dr. Mahuku bw’agamba.
Ayongerako nti, singa kasooli ayingiramu fangaasi ezifulumya obutwa buno ng’akyali mu nnimiro, ne bw’ogezaako okumukuuma ng’akunguddwa agenda kusigalamu obutwa buno n’olwekyo buteekeddwa kukwataganyizibwa ku mitendera gyonna; Okuva mu nnimiro okutuuka ku ssowaani okuyita mu nkola entuufu.
Obutwa bwa Aflatoxin tebulabika ku buwulira ng’olya wadde okubuwunyiriza kyokka bumanyiddwa nti, bufulumizibwa fangaasi. N’olwekyo abalimi tebalina kukebera ttaka lyabwe kuba kintu kiwanvu era kikakali.
“Fangaasi zino zisinga kubeera na kutawaanya birime ebikuluusanyiziddwa olw’embeera y’obudde naddala mu kyeya. Eno y’ensonga lwaki obutwa bwa Aflatoxin bweyongedde mu kasooli ennaku zino olw’enkyukakyuka mu mbeera y’obudde okwawukana n’emabega ng’enkuba etonnya bulungi ebirime ne bibeera biramu bulungi ekiseera kyonna,” Dr. Mahuku bw’agamba.
ENKOZESA
Dr. Mahuku agamba nti, ekirungo kya Aflasafe kyangu kya kukozesa kuba kya kumansa mu nnimiro wiiki 2-3 nga kasooli tannaba kumera luyange omulundi gumu. Mu kiseera kasooli ng’atandise okuwanvuwa mu nkula ye fangaasi zeeyongera okuzaala n’okuyingira mu birime nga wano omulimi w’alina okumansiza Aflasafe.
“Aflasafe kati yatandika okukozesebwa mu Kenya ne Tanzania. Weetaaga kkiro 10 zokka mu buli yiika bbiri n’ekitundu nga buli kkiro egula wakati wa 3,700/- ne 5,600/-. Endagiriro yonna ebeera ewandiikiddwa ku kipapula bye balina okugoberera obulungi okumanya enkozesa entuufu,” Dr. Mahuku bw’agamba.
Annyonnyola nti Aflasafe akolebwa mu buwuka obulamu era yeetaaga amazzi wabula ssuulwe w’oku makya yekka amala okubuyamba okutandika okuzaala