RACHAEL Kadama Kituuka,35, mulimi wa mmwaanyi ng’alina ekirooto ky’okufuula Busoga ekitundu kya Uganda ekifulumya emmwaanyi ezisinga okubeera ez’omutindo mu Uganda ne ku katale k’ensi yonna.
Agamba nti, oluvannyuma lw’okunoonyereza yakizuula nti, Busoga erina ettaka eggimu eribaza emmwaanyi ezifulumya amakungula ag’omutindo wabula nga waliwo ebisoomooza okuli enkola eziyamba abalimi, abakugu ababawabula n’ettaka okuba effunda ne kiremesa abantu okubeera n’ennimiro engazi okufuna amakungula agawera.
Mu lugendo lwa Bukedde okunoonya Omulimi Asinga 2026, TOM GWEBAYANGA akuleetedde ffaamu ya Thena Estates e Busoga abaweza ebikolo by’emmwaanyi 29,000 n’ebya kkooko 8,000.
Empaka z’Omulimi Asinga zitegekebwa kkampuni ya Vision Group okuyita mu kitongole kyayo ekya New Vision Foundation mu nkola ya Vision Sustainable Agriculture (VISA) etwala ne Bukedde ng’ewagirwa ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne zissibwamu ssente kkampuni y’ennyonyi eya KLM, bbanka ya dfcu ne Koudijs BV.
Kadama ng’ali ne bba, Nelson Kituuka,40, agamba nti, baasikirizibwa abalimi b’e Buganda ne basalawo okw’esogga bizinensi y’okulima emmwaanyi nga baddukanya ffaamu yaabwe gaggadde.
Agamba nti, baatandika n’okutereka ssente ku misaala gyabwe, mwe baagula yiika mwenda e Wairaka mu Jinja City, we baava ne bagula yiika endala 67 e Wairasa mu disitulikiti y’e Mayuge, okuweza yiika 76.
Mu 2023 lwe baagula ttulakita ne batandikawo ffaamu gye baatuuma Thena Estates, nga baatandika n’ebikolo by’emmwaanyi 10,000.
Kati balina ebikolo by’emmwaanyi 29,000 n’ebya kkooko 8,000 ku yiika 76, era okusinziirira ku Kituuka, ffaamu baakagiteekamu obuwumbi obukunukkiriza mu bubiri.
“Okutandika mu mwezi gwa DeNelsoncember 2027, tuluubirira okukungula ensawo za kibooko 15,000 omwaka ate mu 2029 tuyingire kkiro akakadde kamu n’emitwalo 20,” Kadama bw’agamba.
Annyonnyola nti, yayagala alage abantu ba Busoga obugagga obw’ensibo, bakyuse endowooza okuva ku bikajjo.”
“Emmwanyi ng’ozirabiriddwa bulungi ng’oziwa nnakavundira ekikolo kimala emyaka egisoba mu 60, ng’ate buli mwaka kikuwa kkiro 10,” Kadama bw’agamba.
LWAKI MMWAANYI?
Uganda yatunda ensawo obuzitowa kkiro 60 obukadde 8.6, omwava ddoola obuwumbi 2.3 mu myezi 12 okutuusa mu May 2026, n’eyisa Ethiopia omulundi ogwasoose.
Uganda erina ekiruubirirwa kya nsawo obukadde 20 mu 2030, ekibalo ekitasoboka kuba emiti gyaffe gikkaddiye ate n’ennimiro nsuulesuule.
Kati kyetaaga ab’amaanyi abalina yiika bikumi na bikumi, ate ku nnima ey’omulembe, Kituuka bw’agamba.
OKUTANDIKA
Mu kusooka ebinnya baabisimisa nkumbi, ze baalaba zibagayaaza, ne bagula ekyuma ekisima (driller) okuva e Kampala.
Kalimbwe gwe bassa mu binnya baamugula ku ffaamu ya Creekside Poultry Farm e Mbulamuti e Kamuli, nga baagula ebisawo ebyasoba mu 2,500, buli kisawo ku 15,000/- nga kizitowa kkiro 100.
OBUYIIYA
Wakati mu layini z’emmwaanyi ne kkooko, Kadama asimbamu ebijanjaalo, soya, muwogo ne lumonde, ebivaamu ezisasula abakozi, amazzi, okufukirira, entambula y’ebigimusa n’eddagala.
Okukuuma obutonde bw’ensi, e Wairasa baasimba yiika za kalittunsi ssatu, nga yassaamu amakubo agasalamu omuyita abagenyi n’abakozi.
“Engeri ffaamu gy’eri ku kaserengeto k’akasozi e Wairasa, twasima ensalosalo ezikwata mukoka,” Kituuka bw’agamba.
TEKINOLOGIYA N’OBUYIIYA
Kadama akozesa tekinologiya waGPS okulagirira abagenyi ffaamu ng’ate buli kikolo kissibwa mu kompyuta, n’enguudo ez’omu nnimiro bwezityo.
Kino akikola olw’abagoberezi ku mikutu gya yintaneeti abeeyongera. Mu kusasula abakozi, ssente bazibasindikira ku ssimu, ekyasooka okubakaluubiriza naye bagenze bakimanyiira.
‘Ensasula y’oku ssimu etuyambye obutayita na mudidi gwa ssente n’okubbibwa,” Kituuka bw’agamba.
Obuyiiya obulala kwe kukyusakyusa ebirime by’alima mu kitundu buli sizoni okuwummuza ettaka kuba ebirime ng’ebijanjaalo, soya ne kasooli byongera ekirungo kya ‘Nitrogen’ mu ttaka.
ENKWATA Y’AMAKUNGULA
Amakungula ag’ebijanjaalo, soya, muwogo ne kasooli mulimu gwa bakozi nga bayambibwako ebyuma naddala ekikungula (thresher).
Muwogo bamusimisa nkumbi, abakozi ne bakola ogw’okuwaata n’okwanika, bw’akala ne bamusaamu obuwunga bwe batunda mu bibuga naddala Jinja ne Iganga ne lumonde omubisi bwatyo.
Okugonza ku mulimu ogw’okukaza muwogo n’emmwaanyi, baaguze ‘solar drier’ eri mu ntegeka z’okuzimbibwa mu October.
OKUGASA ABANTU
Thena Estates ejunye abantu mu kitundu ng’ekozesa abantu 25 mu biseera by’okukoola n’okukungula, nga ab’enkalakkalira bali 8 ate aba lejjalejja bali 20, wabula ng’abasinga bakazi.
“Abakazi tubawa enkizo kuba balina abaana ab’okuliisa, ate baba n’amazima,” Kadama bw’agamba,n’agattako nti, abamu mu kifo eky’okubasasula, babawaamu emmere ne baliisa ffamire zaabwe.
Mu luwummula, abaana bakkirizibwa okukola obutego obukwata obuwuka (twig borer traps) okufukirira, n’emirimu emirala emisaamusaamu.
Olw’okuba ye ffaamu ey’obwannannyini esinga obugazi, yafuuka kya bulambuzi era teggwaako bagenyi abajja okusoma okuva mu Buvanjuba ne Buganda.
OKWONGERA OMUTINDO
Bazimbye ekyuma ekisunsula emmwaanyi kye batuumye Nile Acres Coffee Processing Mill ekizongerako omutindo okuzisaamu kase, nga kitandika mu mwezi guno.
“Tujja kusookera ku zaffe nga bwe tugulirako ez’omu byalo. Amakungula agaffe amanene we galituukira nga kikutteyo,” Kituuka bwe yagambye.
EBISOOMOOZA
Okusoomoozebwa okusinga ky’ekyeya. Emmwaanyi ebikolo 29,000 ne kkooko 8,000, buli yiika omwaka yeetaaga obukadde 4 okufukirira. “Obukadde 4 bungi ku makungula agakyali amatono (ezaabwe zaatandika okubala mu makkati ga 2025),” Kadama bw’agamba, n’agattako nti, mu December 2027, baliba batandise okunoga ensawo eziwera.
PULAANI Z’OMU MAASO
Olw’okuba emmwaanyi ne kkooko biwangaala emyaka 60 n’omusobyo, ba Kituuka baagala babeere ne yiika 350, nga kyetaagisa obuwumbi 5.
“Twagala n’abaliddawo nga tuvuddewo basigale nga balya ssente,” Kituuka bw’agamba.