Amawulire

Emmwaanyi muzirime nga bizinensi okufunamu

BULI lwa October 1, lubeera lunaku lwa mmwaanyi mu nsi yonna era mu Uganda omwaka guno lwakuziddwa mu Busoga n’omulamwa gw’okukozesa emikisa egiri mu bizinensi y’emmwaanyi mu kitundu kya Busoga.

Kabiito ng’anoga emmwaanyi ze.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

BULI lwa October 1, lubeera lunaku lwa mmwaanyi mu nsi yonna era mu Uganda omwaka guno lwakuziddwa mu Busoga n’omulamwa gw’okukozesa emikisa egiri mu bizinensi y’emmwaanyi mu kitundu kya Busoga.
Okusinziira ku mulamwa, essira lyassiddwa ku kwongera omutindo ku mmwaanyi, okutumbula amasamba n’okwongeza ennyingiza z’abantu ssekinnoomu abalima n’okutambuza bizinensi ez’enjawulo ezeesigama ku mmwaanyi.

Joseph Nkandu, akulira kkampuni ya NUCAFE agamba nti, omuntu okufuna mu mmwaanyi ateekeddwa okuzirima nga bizinensi olwo ssente z’assa mu by’akola zisobole okukola amagoba.
“Okuva edda tukimanyi nti, emmwaanyi bizinensi ya nkizo mu kuyimirizaawo ebyenfuna by’eggwanga. Kyokka wadde nga tujaguza olwa ssente ze tufuna ng’eggwanga, Uganda efuna ebitundu 10 ku 100 ebya ssente zeeteekeddwa okufuna okuva mu mmwaanyi zaayo”, Nkandu bw’agamba.
Awa eky’okulabirako nti, kkiro y’emmwaanyi yaguze 18,000/- ne twewaana nga kkiro emu evaamu ebikopo bya kaawa 80. Ku musomo tubadde tutunda ekikopo kya kaawa ku 2,000/-, kyokka mu bibuga nga Kampala ekikopo kya kaawa kitundibwa ku 10,000/- ate amawanga ag’ebweru kiri ku Euro ezisukka mu 4 (eza wano 18,000/-) nga kitegeeza nti, mu bikopo 80 muvaamu 1,440,000/-.
Wabula okusinziira ku Nkandu, ssente zino ntono nnyo nga kyeyolekera mu ssente eziyingizibwa eggwanga omwaka. Omwaka oguwedde kyalabibwa nti, twayingiza obuwumbi bwa ddoola 485 kyokka ng’okutwaliza awamu twatunda emmwaanyi eziri mu buwumbi bwa ddoola okusoba mu bubiri.
Asaba Bannayuganda bonna okwongera okulima emmwaanyi kuba zidda mu buli kitundu kyokka nga bazirima mu ngeri ya ssaayansi olwo omutindo n’obungi obwetaagibwa ku katale bituukirizibwe Uganda esobole okwongera ku nnyingiza okuva mu mmwaanyi.
OKUKEBERA ETTAKA
Dr. David Kirya, omusomesa mu Makerere yunivasite agamba nti, olw’okuba ettaka kwe kuyimirira obulimi bwonna bw’oyagala okuyingiramu, weetaaga okukebeza ettaka kw’ogenda okussa ekirime ky’oyagala okuyingira omanye ebiriisa ebiririmu, ebyetaagisa okwongeramu n’ebirala ebirikwatako.
“Wadde ng’okukebeza ettaka kiyinza okulabika nga eky’ebbeeyi, kikuyamba okumanya embeera y’ettaka kw’ogenda okulimira olwo weeteeketeeke ku bika by’ebigimusa, obungi, embeera y’ettaka mu kukwata amazzi n’ebiriisa kikuyambe obutafiirwa,” Dr. Kirya bw’agamba.
Annyonnyola nti, bw’okebeza ettaka bakuwa lipooti okulambika ku ngeri gy’osobola okulima ekirime ky’oyagala okulima osobole okufunamu okwawukana ne luli nga bakubuulira kirime ekisobola okudda ku ttaka lyo ate nga kisobola n’okukozesebwa okukutabulira ekigimusa ekigenda n’embeera y’ettaka lyo.
Agamba nti, eno y’entandikwa y’okulongoosa omutindo gw’emisiri n’amakungula olwo omulimi asobole okufuna ssente eziwera atumbule ennyingiza.
EBIGIMUSA
Godfrey Kalemera owa Makonde Organic Ltd, agamba nti, endowooza nti, emmwaanyi tezissibwamu bigimusa yaggwaawo kuba ettaka likoze ebbanga nga lyetaagisa okuliisa osobole okufuna amakungula.
“Olw’okuba endokwa ensangi zino zimezeserebwa kusala butabi, weetaaga ekigimusa ekigenda okukuwa endokwa okufuna emirandira egy’amaanyi kiziyambe okukula n’amaanyi,”Kalemera bw’agamba.
Ayongerako nti, bwe zimala okukwata, weetaaga okuziwa ekigimusa ekiziwa ebikoola ebirungi olwo bwe zituuka okumulisa n’oziwa ekigimusa ekigenda okuzisobozesa okukwata ekimuli n’ebibala olw’amakungula amalungi.
AMABANGA
Ensimba esinga okwettanirwa ya ffuuti 8 ku 8 nga wano yiika egendamu ebikolo 450, kyokka waliwo n’ensimba endala ey’amabanga amafunda yiika mw’esimbirwa ebikolo 1,333.
Nkandu akubirizza abalimi okwekwata ensimba eno kuba ettaka likendedde nga kyetaagisa okukozesa ettono eririwo n’ofuna ekisinga.
“Mu nsimba eno osobola okufuna kkiro za kase 1,500 ate nga mu nsimba enkadde, buli yiika evaamu wakati wa kkiro 300-500. Ekikulu si mabanga, wabula endabirira kuba by’okola mu nnimiro y’amabanga amakadde, bye bimu,” Nkandu bw’agamba.
Singa okebeza ettaka, n’osimba endokwa entuufu, okugimusa, okusalira, okulwanyisa obulwadde n’ebiwuka ogenda kufuna amakungula agawera n’amagoba.
AKATALE N’OKUGATTA OMUTINDO
Nkandu agamba nti, omutindo gw’emmwaanyi gukolerwa mu nnimiro ng’osimba endokwa entuufu, okuziriisa, okuzikoola n’ebirala.
Ng’omutindo guwedde okukolebwa, gulina okukuumibwa ng’onoga emmwaanyi ezengedde obulungi nga mmyuufu, okwanika ku matundubaali oba akatandaalo, okukaza obulungi, okuzitereka, okuzikubamu kase ate n’okuzisengeka okusinziira ku bunene bw’emiramwa okutuuka ku kukolamu kaawa.
“Abalimi twetaaga okubeera abagumiikiriza bwe tubeera nga tunaayongera okufuna mu mmwaanyi. Okuyita mu mitendera gyonna egigenda okukuwa ssente, olina okugumiikiriza. Era Bannayuganda twetaaga okujjumbira okunywa kaawa olwo akatale k’emmwaanyi zaffe kongere okugaziwa,” Nkandu bw’agamba.
Agamba nti, bino byonna bwe bikolebwa mu butuufu, ekiruubirirwa ky’eggwanga eky’okutunda ensawo obukadde 20 ezizitowa kkiro 60 ezitunzibwa ebweru omwaka 2030 we gunaatuukira kibeera kya kutuukirizibwa

Tags: