🇺🇬 Tukwagaliza Olunaku olw'Ameefuga ag'e 64 olulungi 🇺🇬
  *   🇺🇬✨ Okujaguza eddembe lyaffe, obusika bwaffe, obumu, okwesiimisa n'omwoyo gwa Uganda. Tiimu ya Bukedde ekwagaliza Olunaku olw'ameefuga olw'omulundi ogwa 64!🎉🇺🇬   *  
Amawulire

Abazigu basse omukazi ow'olubuto olukulu ne bba ne bakuuliita n'ebintu byabwe

Obulumbaganyi bubadde ku byalo 3 mu ggombolola y'e Kitenga mu disitulikiti y'e Mubende, bwe basse abafumbo Ivan Sserwanja 29 ne mukazi we abadde olubuto olukulu Rose Nakalanzi 26, ne babba ssente , amasimu ne pikipiki nnamba UFZ 589C Bajaj boxer. Babadde basuubuzi ba mmwaanyi.

Abazigu basse omukazi ow'olubuto olukulu ne bba ne bakuuliita n'ebintu byabwe
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abazigu balumbye ebyalo ne batta abafumbo babiri n'okulumya abawerako ne bakuuliita ne ssente amasimu, pikipiki n'ebintu ebirala.

Obulumbaganyi bubadde ku byalo 3 mu ggombolola y'e Kitenga mu disitulikiti y'e Mubende, bwe basse abafumbo Ivan Sserwanja 29 ne mukazi we abadde olubuto olukulu Rose Nakalanzi 26, ne babba ssente , amasimu ne pikipiki nnamba UFZ 589C Bajaj boxer. Babadde basuubuzi ba mmwaanyi.

Poliisi etutte embwa kyokka olw'okutonnya kw'enkuba, terina kya maanyi ky’ezudde okuggyako enkumbi ekozeseddwa mu ttemu .

Ku kyalo Lukaya e Bugonzi, ababbi era bayingiridde Sophia Nalukenge 40 ne bamukuba akatayimbwa ku mutwe ne bamubbako essimu ssatu. Atwaliddwa mu Royal Medical Clinic gy’afunira obujjanjabi.

Ku kyalo Kayanja e Nsengwe , ababbi abeebijambiya, balumbye amaka ga Onesmus Tumwebaze ne bagamenya ne babatuusaako ebisago ne mukyala we Agatha Kukundakwe. Babbye essimu bbiri okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, bali ku muyiggo gw'abatemu bano.

Tags:
Mukazi
Bazigu
Kutta
Lubuto
Kubba