Ababbi abatannategeerekeka, balondodde omukazi awola ssente ng'ava mu bbanka, ne bamunyagako obukadde 28 ne babulawo.
Bibadde ku kyalo Kasugu A ku luguudo oluva e Mayuge okudda e Musita, Proscovia Naigaga omutuuze w'eddwaliro zzooni e Mayuge Town council ng'avunaanyizibwa ku loan mu kibiina ky'abakyala, bw'abadde atambuza ssente zino ku bbooda okuva e Lugolole trading centre.
Kigambibwa nti alinnye pikipiki ng'adda e Mayuge nti agivuga atuuse mu kifo ne yeefuula agezaako okugikanika nti era wano abasajja babiri ababadde babawondera kwe kusikambula akasawo okuva ku mukyala oyo ne babulawo.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti bba Titus Maani, ensonga aziroopye ku poliisi era ne basitukiramu okuyigga ababbi abo.